Obwa Pulezidenti Wa Uganda Busaabuluddwa

Abegwanyiza obwa Pulezidenti bandiwerera ddala ebikumi 300

Abasatu bano, basuubirwa okuyita mu kangunta okwsimbawo ku bukulembeze bwe Ggwanga

Uganda Leero: Obwa Pulezidenti Wa Uganda Busaabuluddwa

Akakiiko k’eggwanga akokola kubyokulonda, bukya kalangirira okuyita abo bonna abagala okwesimba ku kifo ky’obwa Pulezidenti we gwanga baddembe okujja okunona empapula ezibawa omukisa okugenda okunoonya emikono gy’abalonzi mu disitikitisi za Uganda bisatu byakuna ate era bazizze ku Kitebe okusobola okusunsulwaamu, baweredde ddala 205, ate nga basuubirwa okweyongera.

Wuliriza eddoboozi ly’omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda nga anyonyola ku bantu bameka abakajjayo empapula z’obwa Pulezidenti.

AUD-20250823-WA0076

Mubano, mulimu abakulembeze b’ebibiina by’obufuzi 12, nga abalala ba sekinoomu. Bino byonna, byategeezeddwa Uganda Leero omwogezi w’akakiiko keby’okulonda mwami Julius Mucunguzi olunnaku lweggulo nga 22,08, 2025. 

Mucunguzi yategeezezza nti okunona empapula zino, kukyageenda mu maaso okutukira ddala nga 24.09.2025. Kale nno omwogezi omwangu bwakugamba nti abegwanyiza obukulembeze bw’eggwanda bandiwerera ddal ebikumi 300 tomunnenya. Newankubadde nti okunona empapula zokusunsulwaamu kulala, n’okuzizza kirala, tulina essuubi ddene nti okulonda kw’omulundi guno, kwandiba ne baloti (ballot papers) ezisukka mu emu. Kino nno singa kiba bwekityo, kijja kubuzabuza abalonzi.

Tusuubira nti akakiiko k’eby’okulonda nga kakozesa obukugu bwaako, kajja kusobola okusunsulamu ab’egwanyiza bano bonna, tusobole okusigaza, abantu abgya ku baloti emu.

Advertising Toyota Vigo

Publisher

Toyota Vigo
Back to top button
error: Content is protected !!