Obutamanya Butambuza Amazzi Ekiro

Ono Minisita Omuto Mu gavumenti Eyawakati Asaanye Asomesebwe Kubukulu Bwa Kabaka Ne Ettaka Mu Buganda

Tiimu y’omupiira eya South Sudan yalaze minisita wa gavumenti ki Kabaka kyaali

Uganda Leero: Ebyembi bisekerwa, ate era n’obutamanya butambuza amazzi ekiro. Lino jjo lyabalamu waliwo minisita mu gavumenti eyawakati eyavaayo naasamwasamwa n’ebigambo nti “Kabaka talina Ttaka mu Buganda”

Ebigambo bino byawawaaza bangi amatu neberabira nti nga ojjeeko Katonda, eri Omuganda yenna Ssaabasajja yaddako era kyaava aweebwa ammanya olukunkumuli ekiraga nti assukulumye ku balala.

Wano owenjogera enyangu wagambira minisita ono nti “afungalalire eri nga Ekyonga ekitayokya” ave ku Kabaka wa Buganda. Ye abaffe ono minisita era Omuganda gwagamba nti yekaninkiriranga obusawo obukamula Kwete, era Omuganda amunyonyola n’ekisoko ekigamba nti “kabulangane kafenyere Ebbuga lyaala bbisi”.

Bannaffe abe Sudan bo baategeera dda Kabaka ki kyaali, era Uganda Leero ewa minisita ono amagezi agende e South Sudan abebuuzeeko asobole okumanya Kabaka yaani, Kabaka alina kifooki mu Uganda eyawaamu era asaanidde kutwaliibwa atya?

Advertising Toyota Vigo
Ekiwuka kino (Enfukuuzi) kirina kyekiraga abantu bwebaba tebaagala kubalondoola tebandirese mukululo gulaga buufu bwebakutte.

 

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!