
Uganda Leero: Â Obutakkaanya Bukutte Wansi Newaggulu Wakati wa Frank Gashumba ne Hajjat Hadijah Namyalo
📍 Bya Uganda Today Newsroom | www.ugandatoday.co.ug
📅 Ssebo-Aseka 23, 2025 – Kampala
 Obukuubagano obuliwo wakati wa Frank Gashumba ne akulira abazzukulu ba Museveni mu yafeesi ya National Chairman (ONC) NRM, Hajjat Namyalo. Namyalo agamba nti Frank Gashumba yavuddeyo okumwogerera amafukuule n’ebikikinike olwokuba ye Namyalo yamujja ku lukalala lwaabo abassassulwa. Namyalo yalaze obujulizi okuva mu mwaka gwe 2023, Namyalo abadde assassula Frank Gashuba obukadde busutu. (3,000,000).
Eby’obufuzi bwa NRM bitandise okufuna obuttakaanya oluvannyuma lw’okuwanyisiganya ebigambo ebisongovu wakati wa Gashumba ne Namyalo.
Frank Gashumba avumiridde Hajjat Namyalo ng’amulanga obukumpanya, obugayaavu mu mirimu, n’okulemererwa okuteeka mu nkola emirimu egikwatagana n’ebyokulakulanya abantu abavubuka n’abakyala mu myaka egyenjawulo. Mu bigambo ebiriko obujulizi bwe yattadde ku mukutu gwe ogwa X (edda ogwayiitibwaanga Twitter), Gashumba yayogerera Namyalo amafukuule agakwata ku mirimu gyenga amulanga okuba nti talina kyakoledde Musveni mu kukyuusa endowooza zabavubuka.

Naye Hajjat Namyalo teyabandadde kwanukula Gashumba. Mu lukungaana lw’bawandiisi b’amawulire ku kitebe kya ONC e Kyambogo, yavuddeyo n’addamu era n’alaga obujulizi obulaga nti okuva mu mwaka gwa 2023, Frank Gashumba abadde afuna ssente okuva mu kitongole kya ONC — nga buli mwezi amuwa obukadde busatu (UGX 3,000,000). Hadhija namyalo agamba nti Gashumba abadde yakamuwa snt eziwera obukadde bitaano (500,000,000)
Namyalo yagambye nti Gashumba yasalibwa ku lukalala lwa bammemba abassassulwa olw’okulemererwa okukola emirimu mu ngeri egasa gavumenti n’abantu. “N’omuntu bw’otamusasula, naye n’omusasula. Twasalawo tumuleke agende bw’atyo Namyalo bwe yategeezezza.
Guno si gwe mulundi ogusooka Frank Gashumba n’abakungu ba NRM okutwaala obuttakkaanya mu lujjudde. Kyokka embeera eno etandise okuvumbula ebyama ebyaali byaakolebwa kizikiza ku ludda lwa Pulezidenti Museveni mu kiseera kino eky’okwetegekera okulonda kwa 2026.
đź”» Tugoberere ku X: @uganda43443
Published by www.ugandatoday.co.ug, your trusted source for news and analysis
Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk
Website: https://www.ugandatoday.co.ug
WhatsApp: +256 702 239 337
X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews
Email: ugandatodayedition@gmail.com
Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today






