Uganda Leero: Obulabirizi Bwe Mukono Bukungubagidde Ssaabadikoni We Bbaale Mesach Lubega
Sunday 19th January 2025
Mukono: Omulabirizi Enos Kitto Kagodo akubirizza abantu okwekwata ku Katonda kubanga yekka yasobola okubaawo leero, enkya neluli, era ye mununuzi waffe omulamu kale nga tebalina kwesiga byansi kubanga biddiba, bifuuka era biggwaawo. Okwogera bino abadde akulembeddemu okusaba kwokwebaza Katonda olw’obulamu n’obuweereza bwa Ven.Can.Mesach Lubega kati omugenzi ku Lutikko y’abatukuvu Firipo ne Andereya e Mukono.
Bishop Kagodo ebigambo bye abyesigamiza ku Yobu :19, kubanga Yobu yayita mu bintu bingi era mukusomooza okwamanyi naye teyajjawo nkolagana ye ne Katonda.
Ye Bishop Kopliano Dunstan Bukenya . Omulabirizi wa Mityana eyawummula ate nga yeyayingiza Can.Mesach Lubega mu buweereza, amwogeddeko ng’omuntu abadde omunyiikivu,omusanyufu era nga tabadde mugayaavu ku mulimu gwe.
Maama Margret Kaziimba , Mukyaala wa Ssabalabirizi w’eKanisa ya Uganda ayogedde ku Can.Mesach Lubega ng’omu ku bantu abaabaniriza obulungi nga batumiddwaayo ng’abalabirizi b’Obulabirizi bwe Mityana. Asabye abantu okusigala nga bawagira family ya Can.Mesach Lubega wonna weeba yetagira obuyambi.
Ye Rev.Yossamu Kintu Ssemukuye , Ssentebe w’ennyumba yabawule mu Bulabirizi bwe Mukono, atenderezza nnyo Can.Mesach Lubega olw’obuweereza bwe kubanga abadde awanirira nnyo Obuweereza bwa Mukama ate nga buli muntu amuwa ekitiibwa.
Oweek.Joesph Kawuki, Minister wa Government ez’ebitundu mu Bwakabaka bwa Buganda . Mu bubaka bwe bwatisse omumyuuka wa Ssekiboobo owo 2, Oweek.Fred Katende asaasidde nnyo Abakulisitaayo bonna , abaana n’abazzukulu olw’okuvibwaako omuntu abadde ow’ensa. Agamba Can.Measach Lubega obwakabaka bumubadde ku mutima, abadde n’okwagala era y’enyigidde nnyo munteekateeka z’Obwakabaka nga kino kibadde kirabikira nnyo mu bikolwa bye.
Ye Mugerere Samuel Ssemugooma Ssengoba,atwaala essaza lya Ssaabasajja elye Bugerere akuutidde abantu be bbaale obutatya, bagume era baddemu amaanyi enjiri ya mukama esobole okugenda maaso.Ayogedde ku mugenzi ng’omuntu akuumye okukiriza kwe okutuusa bwavudde mu bulamu bwensi eno.
Hon.Rev.Dr.Peter Bakaluba Mukasa, Ssentebe wa District ye Mukono yeyamye okukwatirako Bannamwandu babaweereza mumbeera zonna saako okuwa bamulekwa bursary okusobola okweyongerayo n’emisomo gyabwe. ono era yeyamye okuddukirira Obuweereza bwe Bbaale okusobola okugenda maaso.
Gen.Kasiita Goah nga mutuuze we Bbaale, agamba Can.Mesach Lubega ye muntu abadde akola nga teyebalira era asabye Omulabirizi okubawa Ssabadikoni omulala obuweereza bwe Kanisa busobole okugenda maaso.
Ate, Nnamwandu Deborah Lubega , agamba Can.Lubega abadde musajja mwerufu nnyo mu buli kimu kyakola era nga tayagala muntu amuziyizza kola mulimu gwa Mukama. ayogedde ku bba ng’omuntu ayagala amazima era akuumye obwesigwa bwe okuva lwebafumbiriganwa mu 1992.
Ku lw’abaana, David Musasizi Matovu ayogedde ku Kitaabwe ng’omusajja abadde nakamwenyumwenyu akaniriza buli omu era omuntu abadde ayagala ennyo obuweereza bwe.
Ven.Can.Mesach Lubega, yabadde Ssabadikoni we Bbaale owo 3 era abadde wakutuuzibwa mu butongole ku Sunday nga 2 omwezi ogujja. Ono yafudde olunaku lw’eggulo era wakuzikiibwa enkya e Ntwetwe mu Kiboga.
📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk
📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug
📱 WhatsApp: +256 702 239 337
🐦 X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews (Uganda
📧 Email: ugandatodayedition@gmail.com
Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country