Site icon Uganda Today

Obubi N’obuzibu Obuli Mukwerowozaako Nti Gwe Osaanidde Ekifo Ekyo

Rebecca Kadaga ku kkono ne Jacob Oulanyah ku ddyo

Bya Chris Mwesigye Bishaka

Abantu bangi mu gavumenti n’ebitongole byaayo berowozaako nti bebokka abagwanidde ebifo bino awatali mulalala asobola kkola mulimu guno.

Kino nno kintu kibi nnyo era tekyetaagisa. Omuwandiisi waffe, Chris Mwesigye Bishaka agamba nti omuze guno mubi nnyo era naawa ekyokulabirako kati ekiri mu ggwanga wakati wabantu ababiri ababadde baddukanya palamenti, nga omukubiriza waayo Rebecca Kadaga n’abadde omumyuuka we Jacob Lokori Oulanyah.

Bano bombi kakano bali kumbirannye etegambika nga buli omu awera nti yasaanidde era y’ateekwa okkutwaala ekifo kino mu palamenti eddako eye Kkumi neemu.

Kimanyiddwa bulungi nti palamenti ye Ggwanga erina amateeka agagifuga nti era bweeba eyisa etteeka lyonna kigikakatako okulyekennya obulungi nga terinayita okusobola okwewala okuliwakanya mu kooti ya semateeka singa libaamu ebirumira!

Kale n’olwensonga eyo, omuntu yenna asobola okubiriza olukiiko lee Ggwanga nakola omulimu gwo bwa sipiika nga yesigama kumateeka.

Nga ogyeeko okuba nti office eno eriko ebintu ebyenkizo ebiweebwa omuntu agirimu tewasaanidde kubaawo kugugulana kusukiridde ku ani asaanidde omulimu guno bwooba otunulidde amateeka.

Okweyagaliza n’okwerowooza fekka nafekka kyekikolimo ekuzingamiza eGgwanga lyaffe okumala emyaaka n’ebisiibo Bishaka bwaggumiza.

Exit mobile version