Uganda Today Edition: Ssaabasajja Kabaka wa Buganda nga agenda okujjaguza amazaalibwage, Obuganda bwonna buba wamu naye mukujaguza n’okulaga Obuganda ebintu ebyenjawulo Ssaabasajja byaaba akoze olw’obuwereza eri abantube.
Abayimbi abenjawulo bawawula amaloboozi okusanyusa Omutanda
Aba Damba Kezaala Enterprises nga bano bakubi ba plan za farms wano mu Buganda, Uganda n’amawanga ga Africa agomubuva njuba baavuddeyo nga abasaale okuwereza Ssaabasajja obubaka obumuyozayoza.
Aba Keddi Foundation nga bano bakulirwa Hon. Dr. Keddi Steven Zuluba nabo tebalutumiddwa mwana newankubadde nga Hon. Keddi Mugwere naye olwokulaba nga Ssaabasajja alafuubana okutuusa obuwereza obwenjawulo eri abantube mu byobulamu, ebyengiriza, n’ebyobulimi ate nga naye ekitongole kye ekyobwanakyeewa kikola ku bintu nga ebyo naddala okuyamba abantu abatuusiddwako obuzibu bwebigwa bitalaze, okutuusa ku bantu amazzi amayonjo,abalimi n’abalunzi, Hon. Keddi Steven, ayayaana nnyo okusisinkana Ssaabasajja amwanjulire enteekateekaze zalina eri abantube wano mu Buganda.
Banna Uganda bonna abali ebunaayira okutwalira awamu nabo bettanidde nnyo omwaka gunno okuyozayoza Ssaabasajja.
Ebisanyusa ebya buli ngeri bitegekeddwa okusanyusa Ssaabasajja kumazaalibwage. Ssaabasajja bwanaaba asiimye oba oli awo analambula ku bantube abe Kasese. Kasese yesangibwa akazannyo kano. Omuntu asobola okuvuga akagaali kumiguwa nga gisibiddwa erudda n’erudda waggulu mu bwengula ku Nyanja George nga ava e Lyemibuza okudda emitala.