Nambooze Embeeraye Tewomesa Nakabululu
Agamba Nti Yandibaamu Okwetukuta Kw'omusaayi
Omubaka wa Palimenti mu lukiiko lwe Ggwanga owa Mukono Municipality nga kati ali mu myeezi, nga ajjanjabirwa emitala wamayanja, MP Nambooze Bakireke, nga asinziira ku mukutu gwe ogwa Facebook, annyonnyola bwaati embeeraye.
MP Nambooze nga bweyalabika nga asibiddwaako enkoba okusobola okuzza amaggumbage ag’omukono ogwa ddyo munteeko.
Kuno kwebayita okugumira obulwadde naye banange omukono gunnuma ebitanyonyolekeka….okujjako okubagamba nti nina ennaku ku mwooyo kuba nokuwandiika ekiwandiiko bwekiti sikyasobola era nga nzenna zimbye mu kifuba,face n’emikono nga n’abasawo kati bagezaako okunonyereza balabe oba nnina ne omusaayi ogwetukuta (clot) nga kyekivuddeko okuzimba.
Ndowoozezza nti nina obuvunanyizibwa okubabulira bwendi. Munsabireko banange. Sikyebaka ggwe bakugamba batya nti balinga abakulabamu clot ottulo ne tujja?
Ekifanaanyi kya xray kiraga obuvunevobwantuusibwaako emyaaka 5 emabega nti bwaali bwakummenyera ddala eggumba ly’omukono. Kati bwennagwa mukinaabiiro, ekitundu kyomubiri ekyaali kisigadde nga kiwaniridde eggumba nakyo kyatendewarirwa nekisesetuka eggumba nerimenyekera ddala.
Kino kyekyantuukako police bweyali enzijja e Naggalama okundeeta e Kiruddu oluvanyuma lwokulwalira mu Kaddukulu ka police. Lukululana ya puliisi eyali etugoberera yattomera ambulance mwennali, eggumba ery’enso y’evviivi erya kkono nerikosebwa, ate era neryongera okkosebwa mu Mayi w’omwaaka gunno. Kati kyekiretedde obukosefu bwennina okusajjuka. Tusasudde omuwendo munenne banange! Nambooze bweyamalirizza obubaka bwe.