Uganda Leero: Nambooze Ayagala Speke Resort Munyonyo Emmenyebwe
Omubaka wa Mukono Municipality Betty Nambooze Bakireke (NUP) nga asinziira kubikwekweeto ab’ekitongole ekikola kukuuuma obutonde bwensi, ekya (NEMA) byebatandika okukola nga bammenya amayumba g’abantu n’amadduuka sabbiti ewedde, ate nga kino baakikola nga basosola mu bitongole n’abantu kinoomu.
Ebikwekweeto bino, NEMA byeyatandikira mu Lubigi bigenze bitaliza ebizimbe by’ebitongole naddala ebyo ebyabagwiira. Okusinziira kububaka obwafulumiziddwa aba NEMA ne Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija, bagamba nti bataliza kampuni ya mafuta eya Stabex e Nansana nga bekwaasa nti bano bbo baaweebwe olukusa (licence) okuzimba n’okukolera mu Lutobazi lwa Lubigi.
Kino Kyawalirizza Nambooze okusaba ekitongole kya gavumenti ekya NEMA nti bwebaba balwanirira okukuuma obutonde balina okuzingiramu buli muntu kakibe kitongole oba omuntu kinoomu.
Wano weyakangulidde ku ddoboozi naasaba aba NEMA okusittukiramu amangu n’embiro bagende bammenye Wooteri bwaaguuga eya Speke Resort Hotel Munyonyo eyazimbibwa ku Nyanja Nalubaale. Mu katambi akalaga ebimottoka nga biyiwa ettaka namayinja mu Nyanja Nalubaale (Lake Victoria), okusobola okugaziya Wooteri eno, kyaatandika dda okuviirako amazzi okuva mu Nyaanja Nalubaale okwanjaliira mu Nnimiro n’amayumba g’abantu okwetoloola e Nyanja eno yonna gyeyita.
Laba era owulirize Nambooze mu katambi kano: