Lieutenant General Muhoozi Keinerugaba, nga ono kati Generali ajjude emirimu era nga abadde muddumiizi wa’amagye ga Uganda agokuttaka yakawangamula bweyayima ku mukutu gwe gumugatta bantu ogwa Twiita nagamba nti Egye lya Uganda lyeyali adduumira lyaali terisobola kutwaala sabbiiti zisukka bbiri nga tebanaba kuwamba kibuga kya Kenya Nairobi. Ebigambo bino byatankuula abantu baangi mu Uganda ne Kenya.
Mungeri y’okusaanyawo emberebezi eyaletebwa generali Muhoozi ate nga era mutabaniwe, Pulezident wa Uganda yetondera munne owa Kenya olw’ebigambo ebyayogerwa Muhoozi Mutabaniwe.
” Abagalwa banna Uganda, baganda baffe abantu be Kenya ne banna buva Njuba bwa Africa, mbalamusizza mwenna era ne nsaba baganda baffe ne banyinaffe banna Kenya okutusonyiwa olw’ebigambo ebyayogerwa munna magye waffe Generali Muhoozi. Museveni bweyannyonnyola. . Era nayozayoza banna Kenya okuyita mu kalululu akakaggwa emirembe.
” Tekiba kituufu omukozi wa gavumenti oba munnansi oba ow’amagye ge Ggwanga okuyisa ebigambo ebiyinza okuleetawo obukubagano mu mawanga ag’omuliriraano. Waliwo emitendera egiyitibwaamu nga East African Community (EAC) or African Union forum okutuusa obubaka omuntu bwayagala butuuke”
“Mutusonyiwe ndugu zetu WaKenya.era ne banna Uganda abanyiize olw’ebigambo bya Muhoozi eby’okweyingizi mu by’obufuzi bya Kenya. Okwetonda kuno kwonna nakutuusizza ku Pulezidenti William Ruto owa Kenya mu bbaluwa gyenamuwandiikidde.