Site icon Uganda Today

Museveni Yekiise Mu Kabaka

Uganda Today: Pulezidenti Museveni Yekiise mu nteekateeka za Kabaka nga akulembera Obuganda bwakwataganye n’eyali Minista wa Kabaka nga kati ate mumyuuka wa minisita wa tekinologiya n’okulungamya Eggwanga mu gavumenti ya Museveni mukyala Joyce Nabbosa Ssebuggwawo.

Nga ayita kumukutu gwe gumugatta bantu ogwa Twitter, Museveni yakawangamudde nga bweyabadde asisinkannye abakulembeze b’ebika bya Buganda nga bamutwaliddwa Minista Nabbosa Ssebuggwawo.

Ssemateeka Ayogeraki Kubakulembeze Ab’ennono?

Ssemateeka wa Uganda eggwanga kweritambuzibwa akkugira abakulembeze Ab’ennono okwenyigira mu byobufuzi ebyawulayawula mu bantu.

N’olwensonga eyo, Buganda etambulira kubukulembeze mu Bika bya Baganda ebisoba mu 50, era nga Ebika byonna ekittikiro kyaabyo ye Kabaka, kale nno mukiseera kino nga Kabaka mukosefu era nga ali mitala wa Mayanja ajjanjabwa ate Pulezidenti naakozesa Minista okumuletera abakulembeze b’ebika nabasuubiza omuddiddi gw’ensimbi, kiraga bulazi nti Pulezidenti alina kyayagala okuyisaawo nga Kabaka takikirizza.

Okugamba yabayise akole kubizibu byaabwe eby’ensimbi, gaba makweeka Nsamo kubanga gavumenti ya Museveni erina buwumbi na buwumbi sente ezigenda nga zeyongera buli lukya gavumenti ya Buganda zebanja gavumenti yawakati ekulemberwa Museveni.

Tewali nsonga eremesa Museveni kulagira Minista w’ebyensimbi mu gavumenti okusasula ebbanja lino, awo nno Kabaka neyekolera ku bizibu by’abakulu bebika mukifo kya ye, okubayita nabasuubiza ensimbi nga tasoosse nakwogera na Kabaka!

Museveni akkola kino okusikiriza abakulu b’ebika okufuuka ba Mawale eri Kabaka waabwe.

Musajja mukulu Katwere Musajja Akaawa alungamya bwaati.

TWANIRIZA OKUFAAYO KWA GAVUMENTI YA UGANDA ERI EMBEERA Z’EKKAKALABIZO LYA BAJJAJAFFE ABATAK  AB’OBUSOLYA

Byonna bajjajjaffe byebateeseza ne Presidend Museveni byaabwe ng’abantu. Nolwekyo abataka kibakakatako okubiteesaako mu lukiiko lw’abataka; ate oluvannyuma babyanjule eri Ssaabataka.

Mu nkola ennungamu ey’obumu mu nnono y’Abaganda n’obwakabaka, kikakata ku Ssaabataka okutegeeza Ssaabalongo n’Olukiiko lw’abalangira b’emituba okulungamya enteekateeka ya President okutonera abataka obuwumbi bw’ensimbi.

Awo nno ensonga ne zitwalibwa mu lukiiko lwa Buganda, Kabaka n’awabula n’okusiima “ekkula” eri Buganda. Okuwabula n’okusiima kwa Kabaka, by’ebiragiro bya Ssaabasajja eri Obwakabaka bwe.

Ssaabasajja mu mbuga ye eyitibwa EKITTIKIRO alagira Katikkiro okussa mu nkola ebiragiro bye.

Singa tunyweerera ku nnyungirizo z’empuliziganya ezo mu masiga assatu aga Nnamulondo, kitaasa ekkumiro ly’okunyweeza OBUMU, mu Baganda n’Obwakabaka bwaabwe mu Buganda, nti “Ffenna bumu, Omwoyo gumu n’Emmeeme emu”

(+256 704 801 313)

Exit mobile version