
Uganda Leero: Mu Buwangwa n’ennono By’eggwanga ly’Abaganda, Abataka B’ebika bwebakunganira awamu kitegeeza Obumu bw’ekifundikwa ky’Olubugo ekiyitibwa Ssaabataka oba Buganda.
Bya: Katwere Musajjaakaawa
Kale omukolo guno ogwakoleddwa Museveni nga akulemberwaamu minisitawe Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo, Katikkiro oba Mmengo tebagulinaako kakwaate konna, nti era nga Ssaabataka bw’aba teyabadde mu nteekateeka eno oba okukiikirirwa, kitegeeza Ebika by’Abaganda tebirina kakwaate konna ku byakoleddwa; era Embuga eyo eyatuumiddwa Lwattamu temanyiddwa mu byafaayo by’Eggwanga ly’Abaganda.
Awo nno Abantu okuva mu Bika 25 abenyigidde mu nteekateeka y’omukolo guno, baakikoze ng’abantu abenonyeza ebyabwe naye sirwa Bika by’Abuganda. Omwaka oggwaggwa, Uganda Leero yafulumya Eggulire kunsonga eno yeemu era liirino wejjukanye: Museveni Yekiise
📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug
📱 WhatsApp: +256 702 239 337
🐦 X (formerly Twitter): @uganda43443 |
📧 Email: ugandatodayedition@gmail.com
Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country.







