Museveni Akawangamudde: Ekyokugoba Omubaka wa Uganda E Canada Tekimuyigula Ttama
Wuliriza akatambi ka Museveni: Yaggasseeko nti kasita ye asigala mu Uganda ebyo ebyabazungu tebirina mugaso gyaali kubanga asigala nga yerundira enteeze.
Uganda Leero: Museveni Akawangamudde: Ekyokugoba Omubaka wa Uganda E Canada Tekimuyigula Ttama
Jjuuzi bweyabadde addamu ebibuuzo byabannamawulire, Pulezdenti Museveni yakawangamudde byeyabuzziddwa ki kyayogera ku kyokugobwa kwa Jane Ruth Acheng emyezi essatu emabega, nga ono yagobwa e Canada, Puledidenti yazzeemu nti ebyo tebimukwaatako era tebimuyigula ttama kasita ye asigala mu Uganda.
Yaggasseeko nti kasita ye asigala mu Uganda ebyo ebyabazungu tebirina mugaso gyaali era tebimukwaatako kubanga asigala nga yerundira enteeze. Era bwebamuziyiza okugenda ewaabwe abaddamu kimu nti mwebale nnyo.
Engeri yokka gyagamba nti akwataganamu nabazungu eyokugaana abantu okulima emwaanyi webatemye ebibira ekyo akwatagana nabo nnyo era asobola okugenda nabegattako mu kwekalakaasa kuno.
Yagasseeko nti ekyebisiyaga abazungu byebalanga omubaka n’okutuuka okumugoba e Canada, balyokka nebakikola kubanga ye talina kyabetaagako. Yayongeddeko nti ate abazungu mu America bo, bagaana ebisiyaga era nga kino kyekyawanguza Pulezidenti Donald Trump akalulu akakaggwa. Donald Trump naye tawagira bisiyaga.
Kinnajjukirwa nti Muhoozi Keinerugaba nga ono mutabani wa Museveni, ate era nga yemudduumizi wa Maggye, ye jjuuzi yagamba nga ayita ku mutimbagano nti ye bwanaatwala obukulembeze, ajja kujjawo eteeka ly’ebisiyaga kitaawe lyessaako omukono.
Wuliriza akatambi kano akali mu Lungereza n’oluganda.
Reach Out to Us Today!
📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk
📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug
📱 WhatsApp: +256 702 239 337
🐦 X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews (Uganda
📧 Email: ugandatodayedition@gmail.com
Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country!