Munna Magye Generali Elly Tumwine Tuhirirwe Akungubagiddwa Mungeri Ezenjawulo
Yakozesanga Obuyinza Obuungi
Munna magye Generali Elly Tuhirirwe Tumwine eyavudde mu bulamu bwensi eno kumakya ge ekiro ekyakesezza olunaku olwa 25.08.2022.
Yazaalibwa nga 12.04.1954 mu Burunga Mbarara, yasomera Burunga primary School, Kitovu Secondary School ne Makerere University gyeyakugukira mukola ebiyiiye nebisiige.
Ono omwami ataategerekese mannyage, ye yakinnaggukidde okufa kwa Generali Tumwine mungeriye.
Mu 1981, yegatta ku munywanyiwe Museveni nebagenda munsiko okukekeza emundu basobole okujjako obukulembeze bwa Dr. Apollo Milton Obote. Omugenzi yeyasooka okkuba essasi eryasooka mulutalo.
President Yoweri Museveni yalanze okufa kwa Musajja we Generali Tumwine.
Mukulanga kwe kweyakoze kulwokuna, Museveni yagambye nti musajjawe ow’emyaaka 68, era eyaliko minista w’ebyobutebenkevu, yafudde nga ajjanjabwa obulwadde bwa Kokolo ow’omumawuggwe e Nairobi mu Kenya.
Yamwogeddeko nga omusajja abadde yeewaayo okuwereza eggwanga lye.
“Abadde yeewaayo era omuwulize era nga akola obutaweera. Ntuusa okubagiza kwange eri NRA-UPDF- nab’ekinywi Kya NRM ne banna Uganda bonna” Museveni bweyagasseeko
Museveni yagambye nti Tumwine, abadde kitundu mubukulembeze bwa NRA-UPDF era n’okuwereza mu bifo ebyenjawulo mu gavumenti.
“Mubifo bino mwaalimu, omuduumiizi wa amagye, omu kuba kulembeeze abokunttiko mu magye, direkita ow’okunttiko mubyobukessi, minista webyobutebenkevu”, Museveni bweyanyonyodde.
Tumwine yali mu lukiiko lwa gavumenti olufuzi (cabinet) okuva mu 2018 okutuusa mu 2021. Yawummula emirimu gy’amagye mu gwomusanvu 2022.
Bobi Wine Robert Kyagulanyi Ssentamu NUP Pulezidenti.
Yagambye bwaati ku Generali Tumwine. “Munfuufu mwewava ate era munfuufu mwozze. Wumula mirembe Elly Tumwine”
Yayongeddeko n’okwewunya lwaaki ba generali ba Museveni bannansiko (revolutionaries) bava mubulamu bw’ensi eno nga bakyaayiddwa ebitagambika so nga ate baali nfiirabulago za bannansi nga bakubirwa emizira nga bakawamba obuyinza mu Kampala.! Yabasabye abakyaaliiwo balongoose ebyasoba batereze e Ggwanga.
Omubaka omukyala ow’eMityana Joyce Bagala Ntwatwa.
Agamba nti Tumwine afiridde mubbanga nga ye ne banne ebyabatwaala mu nsiko okujjako gavumenti eyaliko omwaali okubba obululu kati byaddamu dda olwokwagala okulemeza Museveni mu buyinza.
Stella Nyanzi.
Ono ye yawandiise ekitontome nga ajjaguza okufa kwa Tumwine mukifo kyokujaguza olwobulamu bwe.
Kakwenza Rukirabashaija.
Ono, naye obutayawuka nnyo kubya munywanyiiwe Stella Nyanzi, bwebali mubuwanganguse e Bugirimani, bweyabadde ayannukula pulezidenti Museveni kububaka bwe bweyatadde ku gimu ku mikuttu mugatta bantu ogwa Twitter, Kakwenza yagambye bwaati, “Ggwe nga bwokungubagira musajjawo, eyalagira abakwata mundu okutta banna Uganda, naffe, mungeri eyanjawulo, tujaguza olw’okufa kwe nga bwetwenywera ku ka Bbiya nga bwetulindirira okufa okukwo”
Obububonero Obumujjukirwaako
Generali Tumwiine yali kunttiko mukulagira abapoliisi okkuba abekalakaasi abaali bawawakanya okwaatibwa Kwa Robert Kyagulanyi Ssentamu mu 2020 nga 18 ne 19 ogwe 11.
Nga obululu bwa 2021 bwakaggwa, era nebuwakanyizibwa abebibiina ebivuganya gavumenti, Tumwine yalagira abaserikale okuwamba, okusiba era n’okutwaala abantu babulijjo mu kooti yamagye bowolezesebwe eyo. Kino kyaali kimenya mateeka.
Ebiragiro bye bino byawaliriza aboludda oluvuganya okwekubira enduulu mu kitongole ekivunaanyiizibwa ku ddembe lyobuntu okumuwawabira. Kino Bobi Wine nabawagizi be kyeebakola kyawaliriza gavunenti ya America okussa envumbo yokutambula eri abantu ba Museveni abawerako nga muno mwotwalidde ne Tumwine. Kale nno tekyewunyiisa nti yafiridde Nairobi so ssi America oba awalala.
Kumulembe gwe, nga minista avunanyizibwa kubutebenkevu yayatiikirira nnyo olwokukwaata abantu babulijjo nebawozesebwa mu kooti y’amagye. Mubano nabalala mwalimu pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu.