Site icon Uganda Today

Motoka Ya Kyagulanyi Aba URA Bagyagalako Obukadde 337

Motoka ya Bobi Wine (Kyagulanyi Robert Ssentamu eyavuganyaako ku bwa president mukulonda okwakaggwa, gyebuvuddeko katono, abawagizibe okuva ebweeru w’eggwanga bamugulira motoka eteyitamu masasi mulufutifuti emanyiddwa nga amoured car.

Motoka eno Kyagulanyi gyagamba nti yagiyisa mumitendera gyona egirina okuyitiibwaamu okugiyingiza mu ggwanga omuli okusasula buli musolo, yayogeza bangi naddala okuva mu gavumenti ebikankana.

Kino kyawaliriza ba puliida ba Kyagulanyi okuwandikira aba URA ngababategeeza nga motoka y’omuntu waabwe bwetalina Musolo gwona gwetasasula.

Baagenda nemu kooti okukugira aba URA obutatagaanya muntu waabwe, wabula kino kooti yakigaana era aba URA motoka nebagisaba Kyagulanyi agitwaale bagyekeneenye. Kati oluvanyuma bakizudde nti Kyagulanyi alina okusasula kantanyi w’omusolo wa bukadde 337 nezisobamu.

Exit mobile version