Uganda Leero
Na bino bikulu okumanya
*Obukulembeze bwaffe obw’obuntu mu Buganda butambulira mu biti bino wammanga:*
*1. Amaka*
Ssemaka alamula abantu bo mu maka ge, bakazi be, abaana b’azaala wamu n’abaddu be bonna.
*2. Owenju*
Ono akulira baganda be ne bannyina bwe bazaalibwa nga omusika wa kitaabwe
*3. Owoluggya*
Ono akulira bassemaka banne bwe bazaalibwa abazaala abenju. Abeera Jjajjaawo asooka
*4. Owoolunyiriri*
Ono akulira bajjajjaabo abasooka, abeera kitaabwe. Ggwe naawe abeera kitaawo naye mu bukulembeze omuyita Jjajja.
*5. Owomutuba*
Ono akulira bataatabo abennyiriri, abeera kitaabwe. Ggwe obeera muzzukulu we
nnakabirye, aba Jjajjaawo owokubiri
*6. Owessiga*
Ono akulira bajjajjaabo abookubiri, aba kitaabwe era naawe aba kitaawo. Ono ye abasimbira emituba. Naye mu bukulembeze omuyita Jjajja
*7. Owakasolya*
Ono akulira bataatabo abookusatu noolwekyo aba Jjajjaawo owookusatu era naawe oba muzzukulu we nnakasatwe. Eyo y’ensonga lwaki ayitibwa Jjajja owakasolya.
*8. Ssaabasajja Kabaka*
Ono akulira bajjajjaabo ab’obusolya bonna naye nga muganda waabwe mu ngeri emu oba endala okusinziira ku ntegeka y’obukulembeze eyagunjibwawo bajjajjaffe abaatusooka nga bavudde e Ssese okujja okulya ensi Muwawa. Kyetuva tugamba nti “Jjajjaange ow’akasolya antuusa ku Ssaabasajja Kabaka”. Tumuyita bbaffe, so si kitaffe kubanga awasa mu buli Kika, omusajja akuwasaako mwannyoko takumanya busajja, kale obeera ofumba mu maka ge ne mwannyoko!
*Obukulembeze obw’emirimu*
*1. Ekyalo*
Ono ayitibwa Omwami Omutongole w’ekyalo kubanga ekyalo ky’ekitongole ekisookerwako mu bukulembeze bwa Buganda. Aba Mukungu era n’abakulu b’ebitongole byonna baba Bakungu.
*2. Omuluka*
Ono ayitibwa Omwami Owomuluka. Emiruka gyawulwamu Mumyuka, Ssaabaddu, Ssaabagabo, Ssaabawaali ne Musaale. Aba Mukungu
*3. Oweggombolola*
Ono ayitibwa Omwami Oweggombolola. Eggombolola zaawulwamu Mumyuka, Ssaabaddu, Ssaabagabo, Ssaabawaali, Musaale, ne Emituba. Aba Mukungu
*4. Essaza*
Ono ayitibwa Omwami Owessaza. Amasaza gaawulwamu Mumyuka, Ssaabaddu, Ssaabagabo, Ssaabawaali, Musaale ne Emituba. Ono aba Wakitiibwa kubanga atuula mu Lukiiko lwa Buganda olukulu.
*Okulonda abamyuka b’abakulembeze mu nnono*
*1. Ggombolola*
Omumyuka w’Omwami w’Eggombolola alina kuba butereevu Omwami w’Omuluka oguli ku ddaala erya Mumyuka.
*2. Ssaza*
Omumyuka w’Omwami Owessaza butereevu alina kuba Omwami Oweggombolola eri ku ddaala erya Mumyuka
*3. Katikkiro*
Nazzikuno nga Owessaza Kyaddondo, Kaggo, y’asongebwamu olunwe okulya Obwakatikkiro addako. Ekyo kyabanga kityo kubanga essaza Kyaddondo lye liri ku ddaala lya Ssaabaddu – akulira abakozi bonna, ekitegeeza akulira Abaamasaza banne bonna.
Omumyuka wa Katikkiro teyaliiwo, ekyo ekifo kiggya ku mulembe guno Omutebi II. Kaggo bwe yalyanga Obwakatikkiro olwo nga Owessaza eriri ku ddaala erya Mumyuka butereevu y’alya Obwakaggo, ate oyo abadde Oweggombolola eri ku ddaala erya Mumyuka butereevu y’alya Obwessaza eriri ku ddaala erya Mumyuka. N’ebifo ebirala nga biseeseetuka bwe bityo nga bwe twalabye waggulu.
Obwo bwe bukulembeze bwaffe Abaganda obw’ennono obwaggumiza Buganda.