Site icon Uganda Today

Missaaki Ssemakula Yekkokkodde Abayokya Amasiro

Munna Uganda Omuyimbi ow'erinnya Mesach Ssemakula, agamba nti kino kyekiseera banna Uganda okutegeera nti ebyobuwangwa ne nnonno ssi bibi

Omuyimbi omututtumufu, era ow’erinnya Missaaki Ssemakula nga ayita mu katambi keyakutte nga ali ebulaaya, yavumiridde nnyo banna Uganda abefunyiridde mu kufeebya eby’obuwangwa byaabwe nga batiitiibya ebyaba kyeruppe.

Akatambi kano keyakwaattidde e Bulaaya, kafulumidde mukiseera nga Kwiini wa Bungereza afudde, abangereza mwebalagidde nti baagoberedde obuwangwa ne nnonno yaabwe yonna egyayo obulombolombo bwaabwe bwonna omuli nokubikira Enjuki ezirundirwa mu Lubiri lwa Kwiini, n’ebirala biingi. Soma kubino https://ugandatoday.co.ug/abangereza-baagoberedde-ennonno-nebakatagga-mukufa-kwa-kwiini/

Akatambi kalaga enyumba ey’essubi nga erimu ebintu biingi omuli n’endeku, ebita ne kalonda omulala muungi alaga abazungu nga bwebatalina ndowooza egamba  nti ebintu ebyo bya sitani nga bweguli wano ewaffe.

Ssemakula yekkokkodde bannakigwanyizi abakkira Amasiro gaba Ssekabaka ba Buganda agali e Kasubi nebagatekera omuliro mu 2009. Laba akatambi wammanga wano

Ssemakula annyonyola nti kati abazungu bannoga sente empya n’enkadde olw’balambuzi abagenda mukifo kino okwerolera kubintu bino.

Exit mobile version