Abatemu abatta abantu mu bitundu by’eMasaka battadde abantu n’abebyokwerinda kubunkenke. 26 Bebakattibwa bukya kitta bantu kino kitandika omweezi gumu emabega.
Kino kiddiridde obutemu obuzze nga bukolebwa ku bantu naddala abantu abakadde abatemu bano bebasanga mu Mayumba gaabwe ammattumbi budde.
Abantu abawerera ddala 26 entamu ezifumba eyaabwe zavunikiddwa dda. Ekikyewuunyisa abantu babulijjo n’abebyokwerinda kiri kimu nti, abatemu bano, batta bussi bantu nebaleka nga tebalina kintu nakimu kyebakuliise nakyo!.
Naye olwokuba nti abatemu bano batta abantu babiribabiri kumpi buli kiro, ate nga bamaze nakubalabula, nga basuula ebibabaluwa “bikiro kitwaala omunaku”, n’okuwandiika ku bisenge byamayumba, kino kiroowoozesa abantu nti oba oli awo abakuuma ddembe tebalemereddwa bulemererwa kukuuma bantu n’ebyaabwe naye balabika babamanyi obuvo, obuufu n’obuddo bwabatemu.
Kati eno Sabbiti tukutte yamukaaga nga abantu battibwa buli kiro naye nga police n’abakuuma ddembe abalala tebanalaga buvunaanyizibwa bumatiza bantu nti balina eky’amaanyi kyebakolawo okumalawo ekitta bantu kino ekyekyeyononero!
Wano omuntu weyebuliza nti emirundi miingi kyeyolese lwaatu nti police bweeba nga ayagala okkola omulimu gwona okugeza okukugira ab’oludda oluvuganya okukola olukungaana lwona, basengeka abawanvu n’abampi okugenda okkola omulimu guno era naabo abasindikiddwa nebakikola n’okuyitawo nebayitawo webandikomye!
Oluvanyuma lw’omwezi omulamba, olwaleero nga 30/08/2021, Minista omubeezi owa ensonga z’omunda, Generali David Muhoozi, akulira ebyentambuza y’ebyemirimu mu police n’akulira ebyokunonyereza mu police lwebakwatiddwa akafansonyi nebesogga Masaka okulaba nga bakola ku kitta bantu kino.! Olwaleero abantu abateberezebwa okuba abatemu 68 bakwatiddwa era kubo 15 nebaggalirwa oluvanyuma lwokusunsulwaamu.
Omubaka Matthias Mpuuga Nsamba owa Masaka Munincipality ayogedde lunnye kumpi buli lunaku nti police tekoze kimala, abantu bakubira police essimu nga balumbiddwa naye police neewa ensonga omuli obutaba na motoka, mafuta, n’ebintu ebirala ebiringa ebyo. Nsamba annyonyola nti abatemu bano baleetebwa na motoka ezijja zibasuula bubifo webagenda okkola obutemu buno.
Ye pulezidenti wa Peoples Progress Party Saddam Ggayira agamba nti obutemu buno butegeke obugenderera okuwayiriza ebintundu ebiba biraze nti tebyawagira pulezidenti n’ekibiina ekye mu bululu byonna obugeenze butegekebwa. Gggayira aggumiza nti kino kyaliwo mu bukiika kkono, era kyaaliwo e Kasese kati kizze Masaka. Ggayira akkatiriza nti Masaka mu Buganda wonna yeyasinga obutalonda pulezidenti n’abantu b’ekibiina kye. Ggayira yaggaseeko nti tekijja kwewuunyisa nti abakuuma ddembe bajja kuvaayo bakwaate abantu nga babalanga okuba emabega w’obutemu buno naye ate nga abatemu benyini basigadde bayinayina.!
Kinajjukirwa nti Pulezidenti Tibuhaburwa Museveni, bweyali nga tannajja mu buyinza mu gy’ekinaana, ne bweyali nga yakawamba obuyinza yagamba nti tayinza kuba pulezidenti munnayuganda nattibwa abamusse nebatakwatibwa! naye ate kati enzita yabantu eno ezze ekolebwa buli luvanyuma lw’akalulu nga ye pulezidenti!.