Site icon Uganda Today

Manya Omubirigwo Nga Bwegukola

hungry african american businessman eating hamburger

 

Obusimu obw’Omu Lubuto ne mu Byenda Bukola Butya ng’Obwongo?
OLINA obwongo bwa mirundi emeka? Bw’ogamba nti olina bwa mulundi gumu oli mutuufu. Kyokka mu mubiri gwo mulimu ekyo bannassaayansi kye bayita “obwongo obw’okubiri,” nga buno bwe busimu obw’omu lubuto ne mu byenda. Ekyo kiri kityo kubanga obusimu obwo, so si bwongo, bwe buwa olubuto n’ebyenda ebiragiro okutuukiriza emirimu gyabyo.
Omubiri okusobola okuggya ekiriisa mu mmere, waliwo emitendera mingi egirina okuyitibwamu era n’empuliziganya ey’amaanyi ebiba byetaagisa. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti omulimu gw’okuwa ebyenda n’olubuto obulagirizi obukwata ku kusa emmere n’okugiggyamu ekiriisa obwongo bugulekera busimu obw’omu lubuto ne mu byenda.
Wadde ng’obusimu obuli mu byenda ne mu lubuto butono ddala ku obwo obuli mu bwongo, nabwo omuwendo gwabwo munene ddala. Kiteeberezebwa nti omuntu aba n’obusimu obw’omu byenda ne mu lubuto obuli wakati w’obukadde 200 ne 600. Bannassaayansi bagamba nti singa emirimu egikolebwa obusimu buno gyali gikolebwa mu bwongo, obusimu obw’omu bwongo bwandisusse obungi ne wabaawo omugotteko. Bwe kityo, ekitabo ekiyitibwa The Second Brain, kigamba nti: “Kirungi era kya magezi okuba nti olubuto lwerabirira.”
“EKKOLERO LY’EBIRUNGO”
Olubuto n’ebyenda okusobola okusa emmere ne bigiggyamu amaanyi n’ebiriisa, waliwo ebirungo eby’enjawulo (chemical) ebiba byetaagisa, mu kipimo ekituufu, mu kiseera ekituufu, era mu bifo ebituufu. Tekyewuunyisa nti Profesa Gary Mawe olubuto n’ebyenda abayita “ekkolero ly’ebirungo.” Engeri ekyo gye kikolebwamu yeewuunyisa nnyo. Ng’ekyokulabirako, mu byenda mulimu obutoffaali obukebera ebirungo (chemical) ebiba mu mmere omuntu gy’aba alidde. Ebyo obutoffaali obwo bye buzuula bisobozesa obusimu okumanya ebirungo (enzyme) ebituufu ebiba byetaagisa okusobola okumenyaamenya emmere omubiri ne gusobola okugiggyamu ekiriisa. Ate era obusimu obwo bukebera obungi bwa asidi n’ebirungo ebirala ebiba mu mmere ne buwa olubuto oba ebyenda ebiragiro okukendeeza oba okwongeza ku enzyme eziba zeetaagisa.
Ebyenda tuyinza okubigeraageranya ku kkolero okusingira ddala eriddukanyizibwa obusimu obubirimu. Obusimu obwo busobozesa ebyenda okutambuza emmere nga bulagira ebinywa by’ebyenda okugenda nga byefunza ate nga bwe bigaziwa. Amaanyi ne sipiidi ebinywa kwe byefunziza nga bwe bigaziwa bisinziira ku biragiro by’obusimu.
Obusimu obwo era bwe bukola ku by’okwerinda mu lubuto. Emmere gy’olya esobola okubaamu obuwuka obw’obulabe. N’olwekyo tekyewuunyisa nti obutoffaali obweru obulwanyisa endwadde, 70 oba 80 ku buli kikumi busangibwa mu lubuto! Bw’olya emmere erimu obuwuka obw’obulabe, obusimu bukuuma omubiri nga buwa ebyenda ebiragiro okwefunza n’okugaziyira okumukumu, ne kiyamba omubiri okufulumya ebintu eby’obutwa okuyitira mu kusesema oba mu kuddukana.
EMPULIZIGANYA ENNUNGI
Wadde ng’obwongo n’obusimu obw’omu lubuto birabika nga buli kimu ekyetongodde ku kinnaakyo, waliwo empuliziganya wakati waabyo. Ng’ekyokulabirako, obusimu obw’omu lubuto buwa obuntu obuyitibwa hormone ebiragiro ne butegeeza obwongo ddi lw’olina okulya, na mmere yenkana wa gy’olina okulya. Bw’okkuta, obusimu obw’omu lubuto butegeeza obwongo nti okkuse era bw’olya ekisukkiridde buyinza okukuleetera okusinduukirirwa emmeeme.
Ne bw’obadde tonnasoma kitundu kino, oyinza okuba ng’obadde okiteebereza nti waliwo empuliziganya wakati w’obwongo n’olubuto. Okyetegerezza nti okulya ebika by’emmere ebimu ebirimu amasavu oba butto kikuleetera okuba omusanyufu? Bannassaayansi bagamba nti ekyo kibaawo obusimu obw’omu lubuto bwe busindika ku bwongo ‘obubaka obw’essanyu,’ ne kikuviirako okuwulira obulungi. Ekyo kituyamba okumanya ensonga lwaki abantu abamu bwe babaako ebibeeraliikiriza balina emmere gye balya gye bagamba nti ebawummuza ebirowoozo. Bannassaayansi balowooza nti basobola okusinziira ku nkola y’obusimu obw’omu lubuto okuzuula engeri y’okuyambamu abantu abalina obulwadde obw’okwennyamira.
Ekintu ekirala ekiraga nti waliwo empuliziganya wakati w’obwongo n’olubuto kwe kuba nti oluusi omuntu bw’atya ayinza okuwulira ng’olubuto lumusala oba ng’ebyenda bimutokota. Ekyo kiyinza okuba nga kiva ku kuba nti obusimu obw’omu lubuto buba buwadde ebiragiro omusaayi okuggibwa mu lubuto ng’obwongo bufunye ekibweraliikiriza. Ate era omuntu ayinza okusinduukirirwa emmeeme kubanga obwongo bwe bubaako ekibweraliikiriza bulagira obusimu obw’omu lubuto okuwa olubuto ebiragiro okuzza emmere.
Wadde ng’obusimu obw’omu lubuto bukola ebintu bingi nga bwe tulabye waggulu, tebusobola kukuyamba kulowooza oba kusalawo. N’olwekyo obusimu obwo si bwongo. Tebusobola kukuyamba kuyiiya luyimba, kubalirira bitabo, oba kukola ebikuweereddwa ku ssomero. Wadde kiri kityo, enkola y’obusimu obwo yeewuunyisa nnyo bannassaayansi era waliwo bingi ebigikwatako bye batannamanya. N’olwekyo, bw’onooba ogenda okulya, sooka ofumiintirize ku mirimu egy’enjawulo obusimu obw’omu lubuto gye bugenda okukola!

Exit mobile version