Uganda Leero: Manya Abalonzi Ab’enkizo Abagwa Mumutendera Gwa Special Interest Group (SIG): Ebibinja Mwebalondera (Colleges)
Bya Basasi Ba Uganda Leero
www.ugandatoday.co.ug
Nga bayita munteekateeka yaabwe engenderere okumanyisa buli Munna Uganda ebikwaata ku bibinja by’abantu ab’enkizo abalondebwa mu bifo ebitali bimu okuviira ddala ku Byaalo, Emiruka, Amagombolola, Divisions, Municipalities nokuutukira ddala ku Lukiiko lwe Eggwanga olukulu (Parliament), Abakakiiko akavunaanyizibwa okukuteekateeka akalulu mu Ggwanga ka (The Independent Electoral Commision) kaateeseteese omusomo ogwagendereddwaamu okubangula banna Mawulire okumanya n’okutegeera okulonda kw’abantu bano gyekutegekebwaamu era nti abantu bano beebaani. Banna Mawulire n’abemikutu egisasaanya amawulire, baabanguddwa era ne baasabibwa okubangula banna Uganda ku nsoonga yabantu bano.

Omusomo gwagguddwawo mu butongole mukyala Patricia Aol, akulira enkola y’emirimu mu kitongole kya EC (Head of Administration) nga ono yakikiridde Ssenkulu w’ekitongole kya EC Justice Simon Byabakama Mugenyi. Aol yaggumizza obuvunaanyizibwa obwamaanyi eri okutegeka akalulu ka’bantu bano nabo basobole okweyagalira mu nsi yaabwe.
“ Ebibinja bya bantu bano ssi busammambiro bwa byanteekateeka yabyakulonda, wabula bantu abassa ettofaali eddene ku nteekateeka y’ebyobufuzi bye Ggwanga ebitambulira ku demokulasiya. Mulimu gwaffe okulaba nti okukikirirwa kwaabwe kukolebwaako mu mateeka.” bweyagasseeko.
Baani Abalina Okuba Mu Bibinja Bya Bantu Bano? (Special Interest Group SIGs)
Ababanguddwa emitendera egyenjawulo egya bantu bano nga muno mwootwalira.
-
Abavubuka (Youth)
-
Abaliko Obulemu (Persons With Disabilities (PWDs)
-
Abakadde (Older Persons)
-
Abakyala (Women)
-
Abakozi (Workers)
-
Abamagye (Uganda People’s Defence Forces) (UPDF)
Buli kibinja kya bantu bano, nga ojjeeko abamagye, (Bbo abatakikirirwa okuva ku byaalo okujjako mu Lukiiko lwe Ggwanga wokka) abalala bonna balina okukikirirwa okuviira ddala ku kyaalo okutuukira ddala ku mutendera gwe Ggwanga lyonna. Okubangula kuno kwesigamiziddwa nnyo ku biki akakiiko k’ebyokulonda byekakola nokulungamya n’okuntambuza okulonda kuno mu mateeka nga bwegalagira.

Abakugu Mu Kubangula Beebakoze Omulimu.
Mu bano mwemwabadde Hajj Abubakar Kayondo, Munnamateeka ow’eddaala erya wagulu mu kitongole kya EC, ne Mwami Ngabirano, nga ono yavunaanyizibwa kukulonda kw’ebibinja bino eby’enkizo (SIG) mu kakiiko k’ebyokulonda. Ababiri bano baamenyemenye biki ebikolebwa mu mateeka nga bwegalagira mu kulondo kuno, baani abakwetabamu, era baba bameka ku buli mutendera., Mwami. Guma Samuel yayongede okujjukiza banna mawulire biki ebyetaagisa obukugu mu kutambaza amawulire mu kulonda nga kuno, nga tebesudde mu ntata ate era nga bakuumye ebigendererwa ebikulu ebisatu mu mawulire: Okumanyisa (Inform), Okuyigiriza (Educate) n’okubeesabeesa abantu (Entertain).

Hajj Kayondo yalambise abantu ebyamateeka akakiiko byekagoberera nga bategeka okulonda kuno.

“Obuvunaanyizibwa bwaffe okuteekateeka okulonda kuno tekuli bweeru wa mateeka. Wabula kusimbulirwa ddala mu mateeka okusobola kulaga obweerufu n’obuvunaanyizibwa ku buli mutendera,” Kayondo bweyanyonyodde.
Ngabirano,yalaze byebayitamu mu masoso gebyaalo okutuukira ddala ku mutendera ogwe Ggwanga lyonna.
Amateeka Omusiinzirwa Okulonda Kuno
-
Ssemateeka W’eGgwanga owa 1995 (The 1995 Constitution of the Republic of Uganda)
-
Etteeka Erisaawo Akakiiko K’ebyokulonda 176 (The Electoral Commission Act, Cap 176)
-
Etteeka lya Gavumenti ezeebitundu (The Local Governments Act, Cap 243)
-
Etteeka Erikwta kunonebwa yabakiise mu Lukkiiko lwe Ggwanga (The Parliamentary Elections Act, 2005)
-
Etteeka erifuga ebibiina byobufuzi (The Political Parties and Organisations Act, 2005)
-
Etteeka erifuga abantu abaliko obulemu. (The National Council for Disability Act, 2003)
-
Etteeka erirungamya abavubuka (The National Youth Council Act, Cap 319)
-
Etteeka erirungamya ennonda yabakozi (The Workers’ Representatives Elections Regulations)
-
Etteeka erifuga abamagye (The UPDF Act, 2005)
-
Etteeka eryassaawo akakiiko kebyomwenkanonkano mu mirimu (The Equal Opportunities Act, 2007)
-
Etteeka erifuga KCCA (The KCCA Act Cap 195)
-
Etteeka erikwaata ku bakyala (The National Women’s Council Act, Cap 318)
-
Etteeka erifuga bitongole byabakozi (The labour Unions Act Cap 228)
-
Etteeka erifuga Enungamya yemirimu mu kakiiko kokulona (Electoral Commission Guidelines and Statutory Instruments)
Amatteeka ago gonna gawa akakiiko kebyokulonda obuyinza okutegeka ebyokulonda kwebibinja bya bantu abo ku kyaalo,(village), omuluka parish), egombolola (sub-county or division), ekibuga ekitonotono (municipality), ekibuga ekinene city), ne disitulikiti (district), n’okutuukira ddala ku lukiiiko lwe Ggwanga olukulu (parliamentary level).
Ebigenda Mu Maaso
Olukiiko lwaggaddwaawo nokweyama okuva mu banna mawulire okusaasaanya okubangula kwebaafunye okukutuusa eri buli munnansi. Ekitongole kya EC nakyo kyayongedde okweyama okulondesa ebibinja byabantu bano mu bweerufu.
Okussaayo omulaka ku kulonda kwebibinja bya bantu bano, akakiiko kebyokulonda kongera okuggumiza obuvunaanyizibwa bwaako mu kuntebenkeza demokulasiya nga tebafuddeyo ku kikula kya muntu.
Okumanyaanga ebisingawo ebifa mu kakiiko kebyokulonda, kyaaliranga omutimbagano gwaffe www.ugandatoday.co.ug.
Published by www.ugandatoday.co.ug, your trusted source for news and analysis
Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk
Website: https://www.ugandatoday.co.ug
WhatsApp: +256 702 239 337
X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews
Email: ugandatodayedition@gmail.com
Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today.






