Uganda Today: ENJAWULO Y’ERINNYA LY’ABANTU, EBINTU, ENKOLA, EBISOLO, EBIWUKA, EBINYONYI, EBYEWALULA OBA EBIMERA N’AMANNYA GA KABAKA.
Ebintu byonna awamu n’abantu bibeera n’erinnya; wabula erinnya libamu ennyingo eziwerako. Gamba nga erinnya “Katwe Katono Kakuumiira ebyama bya Musajja Akaawa Amazima g’ebigambo bye, naye ng’awooma nnyo Amakungula g’ebibala by’emirimu gy’emikono gye”, nga lirina enyingo 12.
LWAAKI KABAKA YE YEKKA Y’ABEERA N’AMANNYA?
Ekisookera ddala buli Ssekabaka alina Obwakabaka obubwe, mu lubiri olulwe n’ekika ekikye (omutuba gwe) guliko agukulira nga gumanyiddwa ng’Omutuba gwa Ssekabaka. Kabaka alamulira mu lubiri lwe, naye ng’afugibwa Omulongo w’Obwakabaka bwa Kitaawe.
Omulangira alondeddwa okudda ku Nnamulondo, asooka kussibwaako ekifundikwa ky’Eddiba ly’Engo okunyweeza ENDAGAANO ya Bajjajjabe n’Omu Oyo OMWOYO asingira ddala bonna eyatandikirwako EGGWANGA BUGANDA, okufuna erinnya lya Ssaabalongo, ekitegeeza nti “Omu oyo onwoyo asingira ddala amussizaako AMANNYI g’obutonzi- Nnamwerula, okuweereza eby’ensi n’obwengula. (omuzizo guno guteekeddwa okukolerwa mu lubiri lwa Kitaawe, ng’amaze okuterekebwa ne guttanyizibwa mu KIGGWA kya Ndawula ku mutala gwa Mugema e Kitala mu Busiro)
Oluvannyuma afuluma olubiri lwa kitaawe okutabaala Ebiruumbirumbi (okunyweeza obuwanguzi bwa Jjajjawe Wasswa muganda wa Jjajjawe Kabaka Kato Kintu; era n’ayambazibwa ekifundikwa ky’obukulembeze bw’abataka okunyweza ENDAGAANO ya Bajjajjabe n’ebika.
Edda nga tewanabaawo lubugo, Abataka bamukwasanga Olunyago, n’aweebwa erinnya lya Ssaabataka; ekitegeeza nti assiddwako OBUYINZA bw’Obutonde – Nnabaamba okukulembera OBUGANDA. (Omuzizo guno gutekeddwa okukolebwa mu Lubiri lwa Ndawula e Nnagalabi ku kasozi Buddo mu Busiro, ne guttanyizibwa mu lubiri lwa Kabaka Kato Buganda e Kalagala Lunnyo Entebe mu Busiro)
KABAKA ng’avudde ku lutabaalo lw’ebirumbirumbi, alabikako ebweeru mu bantu be omulundi ogusookera ddala, n’atuuzibwa ku ddiba ly’Empologoma okunyweza ENDAGAANO ya Bajjajjabe n’abantu bonna kinnoomu okukakasibwa nti ye mussukulumu mu bantu bonna, era ebigambo bye by’ebiragiro n’endagiriro y’Entebe-nkeza (Nnamulondo), okunyweza ENDAGAANO ya Bajjajjabe okukola obuvunaanyizibwa bwonna bw’emirimu gyonna eri Abaganda bonna n’Obwakabaka bwabwe mu nsi yabwe Buganda; era n’aweebwa erinnya lya Ssaabasajja.. (omuzizo gukolebwa mu kifo Kabaka wasiimye)
Eddiba ly’Empologoma y’Entebe-nkeza oba ENNYONJO y’Obuvunaanyizibwa bwa Kabaka.
Era mu lujjudde lw’abantu, ayambazibwa ENGUUGU OBA NGULE okunyweza ENDAGAANO ya Bajjajjabe nti ye Kabaka w’Abaganda, Obwakabaka bwabwe n’Ensi yabwe Buganda..
Eyo y’Ennono y’Obuwangiro bw’obuwangwa bw’AMANNYA GA KABAKA okusinziirwa okunyweza ennyungirizo n’enkwanaganya y’empuliziganya mu Baganda, Obwakabaka ne Buganda.
Ssaabalongo, Ssaabataka ne Ssaabasajja ge, gemasiga okutuula Entebe-nkeza Nnamirembe (Nnamulondo)
Kabaka bwe BUMU bw’Abaganda, mu kifaananyi ky’omuntu omu, ng’alimu abantu basatu: Kitaffe Ssaabataka; Omwoyo Ssaabalongo; n’Omwana Ssaabasajja.
Ssaabalongo alina Embuga ye Amasengere n’olukiiko lw’abakulu b’emituba gya ba Ssekabaka abalungamya Kabaka.
SSAABATAKA alina Embuga ye Kisejwa n’olukiiko lISEKWAw’abataka abakulu b’obusolya bw’ebika, okulambika Kabaka.
SSAABASAJJA alina Embuga ye Ekitikkiro n’abaami, ba Kabaka okussa munkola ebiragiro bya Kabaka.
Waliwo olukiiko lwa Buganda oluvunaanyizibwa okuggumiza n’okuwabula Ssaabasajja Kabaka okussa munkola ebiragiro bya Kabaka eri Obuganda.
Awo nno kye tuva tuwera mu maaso ga Kabaka, nti “GWE NGO, GWE MUSOTA, GWE MPOLOGOMA, SIRIKUTIIRIRIRA… (EKITEGEEZA NTI GWE SSAABALONGO SSAABATAKA SSAABASAJJA..)
Kituufu Ssaalongo kitiibwa era ebitiibwa tebisikirwa.
Wabula Ssaabalongo, Ssaabataka ne Ssaabasajja si bitiibwa, naye MANNYA agasikirwa, era bali abantu basatu mw’omu, nga bonna basikirwa omuntu omu, nga ye mulangira alondeddwa okutuula ku Nntebe-nkeza Nnamulondo.
Abazzukulu mukimanye nti Obuwangwa tebuzaawa, n’ennonobtejyuuka. Ate bwo obulombolombo buddibizibwa oluvanyuma lwa bajjajjaffe abataka okulambika obwetaavu obwo, ate ensonga nezirungamizibwa abalangira b’emituba gya ba Ssekabaka.
Ku mulembe guno ogwa dot com, twandibadde tussa ennyo essira kukunyweeza endagaano ba Ssekabaka neba Jjajjaffe zebaakola, kubanga mwemuva eby’obugagga nga eby’obulambuzi ebifa ttogge leero.
(+256 704 801313
Katwere Katwe Katono Kakuumiira Ebyama bya Musajja Akaawa Amazima g’ebigambo bye, naye ng’ewooma nnyo amakungula g’ebibala by’emirimu gy’emikono gye.