Site icon Uganda Today

Lwaaki Electoral Reforms Zaali Zirina Okuba Nti Zaakolebwa Mu 2001?

Uganda Leero Kampala:

Mu mwaaka gwo 1980, Pulezident Museveni nga asinziira mu kibiinakye eky’ebyobufuzi ekya Uganda People’s Movement (UPM), yetaba mu kalulu akategegebwa gavumenti ya Obote.

Akalulu bwekaggwa, Paulo Muwanga yawamba obuyinza bw’akakiiko keby’okulonda nakagaana okulangirira Paul Kawanga Ssemogerere owa Democratic Party (DP) eyali awangudde akalulu ako.

Ekyajja abantu enviiri kumitwe, ye Paul Muwanga okulangirira munywanyiwe Milton Obote mukifo kya Paul Kawanga Ssemogerere nti yeyali awangudde akalulu.

Kino nno, kyaviirako Yoweri Museveni eyali akwebedde mubesimbawo, omwaali Dr. Paul Kawanga Ssemogerere DP, Mayanja Nkangi CP, Milton Obote UPC, ne Yoweri Museveni UPM okwesogga ensiko okulwanyisa Obote eyali yewangamiza ku bukulembeze nga ayita mu kubba akalulu. Kinajjukirwa nti obutafaananako nga bweguli kati, abesimbawo bonna mukiseera ekyo, baanoonyanga akalulu nga tewali abakuggira wadde okubakuba kumukono nga bweguli kati okuviira ddala mu 1996 okulonda Pulezidenti lwekwaddamu.

Museveni nga ali n’omugeenzi Ali Muwabe Kirunda Kivejinja nga annoonya akalulu mu 1980. Newankubadde nga Obote yabba akalulu ako, naye teyakugirako bamuvuganya kunnoonya kalulu

Museveni munsiko ye Luweero gyeyessogga mu 1981, yamalayo emyaaka 5 nawamba obuyinza mu 1986. Yasuubiza abantu ensi n’eggulu nga bweyali agenda okulembera eggwanga emyaaka 3 gyokka ategeke akalulu abantu basobole okwerondera omukulembeze gwebagala.

Emyaaka 3 bwegyaali ginatera okuggwaako, Museveni yamattiza banna Uganda nti, Obote yali yammennya Ssemateeka wa 1962, Eggwanga kwelyaali litambulizibwa nafugira Eggwanga ku ka “Pigion hole constitution” ate ye Amin, eyali yamukunkumula omukono mu kibya, ye Eggwanga yalitambuliza ku “decree”  (ebiragiro ebibye nga omuntu).

Museveni yamattiza banna Uganda nga bwekyaali kyetaagisa okuzzaawo Ssemateeka, bwatyo yagenda mumaaso nokutondawo akakiiko ka Constituent Assembly akaalina omulimu gwokunnoonya ebirowoozo byabantu okusobola okuzzaawo Ssemateeka we Ggwanga.

Kino kyakolebwa era Ssemateeka natongozebwa mu 1995.

Biki Ebikulu Ebyaali Mu Ssemateeka Ono?

Ssemateeka Ono yassaawo ekkomo lya myaaka 10 kubisanja Pulezidenti yenna byeyali alina okumala mu buyinza.

Era Ssemateeka yali yassaawo ekkomo ku myaaka 75 omuntu yenna gyeyali talina kussussa nga ye Pulezidenti.

Ebintu ebyo ebibiri byaali bya nkizo nnyo mu byobufuzi bwe Ggwanga lyaffe, naye byombi byaggibwawo dda mu Constitution. Ebisanja byaggibwaawo mu 2005, okusobozesa Pulezidenti Museveni okwesimbawo mu 2006, ate ekkomo ku myaaka neriggibwaawo mu 2017 era okusobozesa Museveni okwesimbawo mu 2021.

Lwaaki Electoral Reforms Zaali Zirina Okuba Nti Zaakolebwa Mu 2001?

Bwomala okunyonyoka ensonga ezo zonna waggulu, olaba bulabi nti bweyamala okwesimbawo mu 1996 ne 2001 ebebisanja ebyaali bimaze okumuwa emyaaka 10, ate nga okuviira ddala ku kalulu ka 2001, Pulezidenti Museveni Azze awalawalibwa mu Kooti nga alangibwa okubba akalulu, kyandibadde kyamakulu nnyo okukola electoral reforms nga Kooti bwezze eragira nasobola okwejjalo olujejeemo.

Biki Kooti Byeyannokolayo Nga Ebizze Bisaana Okkolebwa Mu Electoral Reforms?

Akakiiko k’ebyokulonda okuba nga tekalondebwa Pulezidenti

Pulezidenti okuwaayo obuyinza eri omuntu omulala emyeezi 6 nga akalulu akaddako tekanabaawo singa aba ayagadde okuddamu okwesimbawo mu kalulu akaddako.

Okuzzaawo ekkomo ku bisanja ne ku myaaka gyobukulu 75 omuntu yenna gyatalina kussussa nga Pulezidenti.

Pulezidenti okugiibwaako obuyinza obulonda Ssabalamuzi, abalamuzi ba Kooti enkulu, Kooti ejjulirwaamu, Kooti ya Ssemateeka ne Kooti eyokuntikko.

Okuviira ddala mu 2001 Dr. Kizza Besigye lweyawawala Museveni namutwaala mu Kooti nga amulanga okubba akalulu k’omwaaka ogwo, Kooti yamattizibwa nti akalulu tekabbibwa mukukabala wokka, wabula ne mungeri nyiingi nnyo eziyitibwaamu okukategeka okutukira ddala ne mu Kooti singa wabaawo awaaba.

Kino ekya balamuzi ba Kooti okuba nti bazinira ku ntoli za Pulezidenti kuba nti yeyabalonda kyeyoleka lwaatu mu musango Kyagulanyi gweyaloopa Museveni oluvanyuma lwa kalulu ka 2021.

Kyagulanyi yawalirizibwa okujjayo omusango ggwe mu Kooti Olwokuba nti Ssabalamuzi (alondebwa Pulezidenti) yali alabika okubaamu kyekubiira mu nsala y’omusango.

Obubonero obuwerako bwalaga nti Ssabalamuzi yali assisinkanye omuwawabirwa (Pulezidenti) era nga kisubiirwa nti baali bogeera ku nsala yamusango ogwo.

Nabuli kati omulamuzi Esther Kisaakye eyavaayo n’ensala eyawukana ku yabalamuzi abalala mukusalawo eggoye ki ekyaali kirina okusalibwaawo nga Kyagulanyi ajjeeyo omusango, Ssabalamuzi yamugaana okusoma ensalawooye era okuva olwo bali kumbirannye!.

Akakiiko K’ebyokulonda Akaliwo Ssentebe ne Bakamisona bonna balondebwa Pulezidenti – Kino ssi kituufu era ssi kyabwenkanya.

Ekyokulabirako obutali butuufu bwakino, ye Ssentebe wa kakiiko Kano Badru Malimbo Kiggundu, eyakulira akakiiko Kano okumala emyaaka 14, okuva mu 2002 -2016.

Kiggundu ono kati mukiseera kino, Ssentebe wa akakiiko akalondoola okumaliririzibwa kwa Ddaamu zamasanyalaze eya Isimba Hydro Electricity ne Karuma Hydro Electricity, nga ekifo kino kyamuweebwa Pulezidenti olwokumusiima omulimu gweyakola mukakiiko k’ebyokulonda gyeyamala emyaaka 14 nga awaniridde Pulezidenti mu bululu obwemirundi ebiri bweyategeka.

Badru Kiggundu nga abiibya kugaliba enjole nga ali ne Ssabaminista Robinah Nabbanja ku mukolo gw’okwanjula kwa muwala wa Kiggundu mu Maka ga Kiggundu e Mpigi.
Munywanyiwe Museveni yawerezza obubaka obwettikiddwa Nabbanja.

Ebyo nebirala ebiwerako, byebimu ku nnongosereza ezandibadde Zaakolebwa mu 2001.

 

Exit mobile version