Okutandikira ddala ku mulembe gwa Ssekabaka Ssuuna, ensi eno Buganda yatandiika okutuukirirwa abagwiira naddala Abawarabu mumyaaka gyo 1800.
Wano Abaganda bayiiyiizawo n’oluyimba olugamba nti “abatabaazi abedda baali baawufu, nga ne mundu ezibwatuuka zaali teziri muno, zajja ku mulembe gwa Ssuuna mubiro biri…”
Bishop Katumba Tamale Annyonnyola
Waliwo ensobi gye ndowooza nti ng’enderere okuwabya abantu nti ekifo *ky’Abakristaayo* awattirwa Abajulizi lwaaki kiyitibwa *Nakiyanja!*
Ekituufu kiri nti:
1. *NAKIYANJA:* Kano ke kagga _(stream)_ akaawula Essaza lye Kyaddondo ku ly’e Kyaggwe _(natural boundary),_ akali oba akasangibwa wammangako w’ekifo _(Ettambiro/Ekiggwa)_ *ky’Abakristaayo* Abajulizi _(Anglicans & Roman Catholics)_ we battirwa nga bookebwa mu kikoomi ky’omuliro!
2. Ebitundu byonna ebiriraanye emigga oba ennyanja tebiyitibwa mmannya ga migga egyo oba nnyanja ezo; okugeza:
• *Jinja, Njeru,* oba *Bujagaali* tebiyitibwa *Kiyira* oba *Nile* kubanga biriraanye omugga ogwo!
• *Entebbe* oba *Ggaba* tebiyitibwa *Nalubaale* oba *Victoria,* kubanga biriraanye ennyanja eyo!
3. *NAMUGONGO:* Erinnya lino liva ku ngeri y’obukambwe n’okutulugunyizibwa Abajulizi gye baayisibwamu okutuuka awali ettambiro lino; anti baabatuusaawo nga baabawalulira oba baabakuluulira ku *migongo* gyabwe nga amaanyi agatambula g’abaweeddemu dda.
Abantu abaabalaba oluvanyumako nga bali mu mbeera eno, be baabuuza bannabwe abaaliwo nga Abajulizi baakatuusibwa mu kifo kino nti,
*”Bano abatakyafaananika batuuse batya wano?”*
Ne baabaddamu nti,
“Batuuse *na mugongo,* nga baabawalula!”
Ekiseera kinene bwe ky’ayitawo, ekifo kwe ku kiyita *Namugongo!*
4. *KYALIWAJJALA/BULOOLI:*
Ekifo ky’Abakristu _(Roman Catholics)_ awali Basilica we wattirwa *Omujulizi Kalooli _(Charles)_ Lwanga.*
Oluvanyuma lw’okutambula ebbanga eddene okuva e Munyonyo, ate n’okutulugunyizibwa, Omujulizi ono y’asaba Abambowa _(Abasirikale)_ bamuttire awo; n’abagamba nti,
*”Nze nkooye munzitire wano; anti ne bwe munaantuusa mu ttambiro ndi wakufa sijja kwegaana Kristo!”*
Awo omu ku Bambowa kwe kumusogga effumu n’amutta
Kalooli Lwanga ye teyayokebwa muliro!
N’olwekyo, ekyaalo Omujulizi ono kwe yattirwa tekiyitibwa *Namugongo,* wabula kiyitibwa *Kyaliwajjala* oba *Bulooli* okuva mu linnya lye erya *Kalooli.*
5. *EBIFO BYOMBI:*
Olw’obumu _(unity in diversity)_ mu Kristo obwayolesebwa Abajulizi baffe *Abakristaayo* _(Anglicans)_ , *n’Abakristu* _(Roman Catholics)_ nga battirwa wamu ku Kiggwa *ky’Abakristaayo e Namugongo* , ebifo byombi kaakano biyitibwa erinnya lino *NAMUGONGO.*
*The Rt. Rev. Henry Katumba Tamale,*
BISHOP OF WEST BUGANDA DIOCESE