Site icon Uganda Today

Kyagulanyi Emisinde Gya Kabaka Gyamusanze Bungereza

Multitudes braved torrential rains to participate in Kabaka's run. Runners including Mulangira Wassajja younger bother to Kabaka.

Uganda Leero: Kyagulanyi Emisinde Gya Kabaka Gyamusanze Bungereza

Newankubadde nga ekibiina kyakulembera ekya NUP, kyaagula emijoozi egyokuddukiramu gya bukadde 20, naye ye Robert Kyagulanyi Ssentamu omukulembeze waakyo teyasobodde kubaawo mu Lubiri e Mmengo nga Ssaabasajja asimbula enkuyanja y’abantu abagumidde enkuba eyabadde efuddemba nebeetaba mu misinde egitegekebwa buli mwaka okujjaguza amazaalibwa g’omuntanda.

Abantu ba Ssaabasajja abakunukiriza mu mitwaalo ekkumi n’ebiri bebasubirwa  okuba nti betabye mu misinde gino. Olw’obuvunaanyizibwa obwalobera wa Nyindo okweggala, ne Kyagulanyi tebwamusozesezza kuba mu Lubiri.

Naye kino tekyamulobedde kulaga buwulize eri Beene. Kyagulanyi teyalinde misinde gyategekeddwa banto ba Ssaabasajja abe Bungereza ye yatandikiddewo nalaga Ensi nga ye Bwaali omusajja wa Kabaka atalimutiririra.  Awngaale nnyo Kabaka waffe.

Published by www.ugandatoday.co.ug, your trusted source for news and analysis

Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk

Website: https://www.ugandatoday.co.ug

WhatsApp: +256 702 239 337

X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews (Uganda

Email: ugandatodayedition@gmail.com

Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country

Exit mobile version