Site icon Uganda Today

Kyagulanyi Akaalamukidde Aberimbika Mu NUP Nebavvoola Obuganda

Omukulembeze w’ekibiina kya NUP n’ekisinde kya “People Power” okutwalira awamu, Robert Kyagulanyi  Ssentamu, atabukidde banna Uganda ababuli ngeri nabalabula balekere awo okwerimbika mukulwanirira eddembe lyabwe ate nebatyoobola ennono n’Obuganda.

Kino kiddiridde omukyala eyeyita Nalubwama eyasinzidde mu kwekalakaasa okwabadde mu Boston mu America natyoboola abakulembeze ba Buganda.

Kyagulanyi Agamba bwaati

Ndabye akatambi akenyamiza nga omukyala omu ayambadde ebyambalo bya People Power mu kwekalakaasa e Boston.
Newankubadde nga tuwagira abantu baffe okwekalakaasa mu ddembe nga bawakanya ebibanyiga byonna, kino kyabade kya buswaavu eri ffenna okulaba Nalubwama nga avvoola Maama Nabagereka ne Kattikiro.
Eno ssi y’enkola oba endowooza yaffe nga aba People Power oba NUP.
Tuvumirira enneyisa oba enjogera yonna evvoola Buganda.
Abalabe baffe bagala kulaba nga twetemyemu ebiwayi awo balyoke basobole okutufuga nga tetusobola kwegatta kubalwanyisa.
Nsaba bonna abavoola ennono nga bambadde ebyambalo byaffe bakikomye amangu ddala.
Omuntu yenna ayambala nga ffe nakola ebivoola e Mbuga abeera n’ekigendelerwa eky’okutufaananya nga balabe ba Buganda, ekitali kituufu.
AYI KATONDA KUUMA KABAKA WAFFE.

Exit mobile version