Site icon Uganda Today

Kyaddaaki Katikkiro Ayatudde Nti Ssabasajja Kabaka Mukosefukosefu

Okwogera kwa Katikkiro eri Olukiiko lwa Buganda leero mu bufunze:

Bwe twali ku mukolo ogw’okujaguza amazaalibwa ga Kabaka mu Lubiri e Mengo nga 13 Kafumuulampawu 2021, Ssaabasajja yalina obukosefu, era nga bwe nnabategeeza mu kiwandiiko kye nnafulumya nga 16 Kafumuulampawu, 2021.

Njagala okubakakasa nti embeera ya Ssaabasajja ekwatiddwa abasawo n’obukugu obwetaagisa era tulina essuubi nti ajja kussuuka.


Owekitiibwa Omukubiriza, okwosa enkya ku Lwokusatu nga 12/05/2021, ngenda kuweza emyaka 8 nga mpeereza Ssaabasajja Kabaka n’Obuganda bwonna nga Katikkiro. Mu myaka egyo, ebintu ebiwerako bituukiddwako nga tuli wamu nammwe.
Nneebaza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okunkwasa obuvunaanyizibwa okumulamulirako Obuganda mu bbanga eryo eriyise.
Nneebaza Kabinneeti ya Ssaabasajja Kabaka, Olukiiko lwa Buganda, Abalangira n’Abambejja, Abaami ab’Amasaza n’abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna mu Buganda n’ebweru, Abataka Abakulu Ab’obusolya, ate n’abakulembeze ab’enjawulo mu Bwakabaka, bwe tutambuzza emirimu mu myaka gino omunaana egiyise. Ne bannaffe mu Uganda yonna betukolaganye nabo tubeebaza.
Nneebaza Katonda atubedde okutuula wano wetuli.


ETTEEKALY’ETTAKA
Twawulidde amaloboozi agagamba nti waliwo enteekateeka ey’okukyusa mu tteeka ly’ettaka nga kyesigamizibwa ku alipoota ey’omulamuzi Catherine Bamugemereire. Twawulira n’oluvuuvuumo olw’okuwera ettaka lya mayiro. Ensonga eno tugiwakanya, era nze nnababuulira dda ensonga ezivaako obuvuyo ku ttaka. Ne leero ka nziddemu era zeezino wammanga:
 Obunafu bwa poliisi mu kunoonyereza ku nsonga z’ettaka.
 Obunafu bwa kkooti obulemesa okulamula ensonga z’ettaka mu budde obumpi.
 Okweyongera kw’obungi bw’abantu so nga ettaka teryeyongedde. Ettaka abalyetaaga
beyongedde ne kyongera enkaayana.
 Okukaddiwa kw’ettaka, kino kitegeeza nti abantu beetaaga ettaka ddene okufuna
emmere ebamala ne kivaamu enkaayana.
 Emivuyo mu woofiis z’ettaka yonna gyeziri. Obuli bw’enguzi busobozesa abantu
abakyamu okufuna ebyapa mu ngeri etali ya bwesimbu.
 Okuyingiza eby’obufuzi mu nsonga z’ettaka. Ba RDC, bannabyabufuzi n’ebitongole
ebikuuma eddembe byeyingiza mu nsonga z’ettaka ekyongera okutabangula.
Ezo waggulu zemmenya z’ensonga ezivaako obuzibu ku ttaka so ssi taka lya mayiro. Ettaka lya mayiro libaddewo okuva mu 1900; tulina okwebuuza lwaki emivuyo gitandise wano jjuuzi mu myaka egya 1990 ne mu myaka egya 2000?


Eddembe ly’Abannamawulire
Ennaku zino tulaba nga bannamawulire bakubibwa, bamenyebwa, batyoboolebwa ate n’abamu battiddwa nga bali ku mulimu gwabwe ogw’okusaka amawulire. Bannamawulire omulimu gwe bakola mukulu nnyo era singa tebaliiwo, osanga ebintu ebikolebwa bingi abantu tebandibitegedde. Awonno, tusaba abakuuma ddembe okuwa bannamawulier ekitiibwa kyabwe nga bakola emirimu.


Abavubuka abaasibibwa mu biseera eby’okunoonya akalulu.

Ebbanga kati lyetoloodde bukya abavubuka bano bakwatibwa era ne baggalirwa. Abantu bano balina abantu baabwe (abakyala n’abaana) be baali balabirira ate ne bakadde baabwe. Tusaba gavumenti etwale abantu bano mu kkooti bafune obwenkanya. Tusaba gavumenti yeekube mu kifuba ebasumulule.
Okukuumira abantu mu makomera kireeta obunkenke – ate eggwanga liba lifiirwa.


Abavubi ku Nnyanja
Emirundi mingi bwe nkyalira abantu abaliraanye ennyanja, bambuulira ebizibu eby’abavubi ku nnyanja. Abavubi awamu n’abo abeesigamye ku mirimu egikolebwa ku nnyanja bakaabye nnyo mu kiseera kino.

Tetuwakanya kukwasisa mateeka naddala ku nvuba embi etali mu mateeka, nga okukwata obwennyanja obuto, oba okukozesa obutimba obumenya amateeka, naye kino kisaana kukolebwa mu ngeri ennungamu, nga teriimu kutyoboola ddembe ly’abantu oba okwonoona ebintu.


Endwadde ya mukenenya
Obubaka ku mukenya tuwulidde bungi nnyo, naye olw’okuba nti ekirwadde kino weekiri,
kitegeeza nti tulina okwongera okujjukiza abantu nti bwa bulabe nnyo.

Tubasaba mu bwekuume. Mugenda mwekebeze, muzuule wemuyimiridde. Asangibwa nga abulina, tumukubiriza okugenda mu basawo afune obujjanjabi ate n’okubudaabudibwa. Abalwadde eddagala mulimire nga abasawo bwe babalagira.


Ssennyiga Kolona
Obulwadde buno nabwo kati tubuwuliddeko bingi. Naye weebuli ate bwabulabe nnyo. Mulaba kyebukola abantu mu Buyindi. Temugayaala bassebo ne bannyabo. Mugende babageme. Mwambale obukookolo, munaabe mu ngalo ate n’obulagala obutta akawuka oko temubusuula muguluka mmwe abasobola okubugula.


Gavumenti Empya
Pulezidenti Museveni agenda kulayizibwa ku kisanja ekirala kya myaka 5 nga 12 Muzigo, 2021.
Tusaba ebitaatambula bulungi mu kisanja ekiwedde bitereezebwe.

 Muno mulimu ebintu bya Buganda ebitannatuddizibwa, ate ne ssente zetubanja. Federo nayo tukyagibanja.
 Okulwanyisa obwavu n’ebbula ly’emirimu naddala mu bavubuka.
 Okutereeza ensonga omukaaga ezivaako obuvuyo bw’ettaka.
 Obumenyi bw’amateeka n’ettemu.
 Obuli bw’enguzi.
 Tusaba ensonga ezaaleeta gavumenti eno nga: eddembe ly’obuntu, obukulembeze obutambulira mu mateeka binywezebwe mu kisanja kino.

Bonna abaalondebwa tubasaba basoosoowaze ensonga ezikwata ku muntu wa bulijjo: – Ebyobulamu

  • Ebyenjigiriza
  • Okutumbula ebyobulimi n’obusuubuzi.
    Tubaagaliza obuweereza obulungi.

Eid El Fitri
Njozaayoza abayisiraamu bonna abasobodde okusiiba nebamalako omwezi gwa Ramadhan.
Tubasaba empisa ennungi zemwolesezza mu kiseera ky’ekisiibo, muzitwale mu maaso.
Tubaagaliza Eid ennungi gyetusuubira wiiki eno.


Ebisembayo
Ka mmalirize n’ensonga zino bbiri wammanga:

  1. Muwulira ebyogerwa bingi ku mutimbagano, naye ffe nga abakulembeze tupimirwa ku bye tukola n’engeri gye tubikolamu. So si ku bitwogerwako. Ate era omukulembeze yenna ayogerwako. Kyokka ebiba biwuliddwa bisaana okugeraageranyizibwa n’ebyo ebiriwo era ebikoleddwa ate n’engeri gye bikoleddwamu. Bw’ogeraageranya ku byogerwa n’ebyo ebikolebwa, kiba kyangu okutegeera ekituufu.
  2. Okusinziira ku mbeera gye tubaddemu ey’ekirwadde ki Ssennyiga Kolona, embeera mu Bwakabaka tetambudde bubi. Tewali kkampuni ya Bwakabaka neemu eyaggalawo; tewali mukozi yenna yasalibwa ku mulimu, ne wankubadde tubasasula akatona akaliwo. Era tewali nteekateeka ya Ssaabasajja Kabaka yayimirira newankubadde abantu tebamulabye mu bitundu bya Buganda byonna nga bulijjo bwe kiba.

Awonno, nkyogera n’essanyu nti okusinziira ku mbeera eyaleetebwa Lumiimamawuggwe n’okusinziira ku ngeri emirimu gye gitambudde mu mwaka omulamba ogwakayita, Obwakabaka tebuyimiridde bubi.

Ayi Katonda kuuma Ssaabasajja Kabaka.

Olukiiko lwa Buganda nga lugenda Maaso
Katikkiro Charles Peter Mayiga

Exit mobile version