Kooti eyokuntikko mu America New Jersey, ekawangamudde abalamuzi 5 ku 4, bwebakiriziganyizza nga enkuyege ku musango gwokujulira ogwagireterwa mwami James Banes ne Mwanyina Victoria Banes.
James Banes ow’emyaaka 41 ne mwanyina Victoria Banes ow’emyaaka 38, baajulira mu Kooti eyokuntikko nga bawakanya ekyasalibwaawo mu Kooti eyawansi nti tebasaanidde kufumbiriganwa nga omwami n’omukyala newankubadde nga bagalana olwokuba baluganda.
Bano emyaaka 10 emabega baatwaala omusango gwaabwe mu Kooti ejulirwaamu era abalamuzi 5 ku 4 bagambye nti abagalana bano n’abalala abagwa mu kkowe lino mu America okutandika kati, n’okweyongerayo baddembe okufumbiriganwa singa baba bagadde.!
Ensalawo eno yakomekerezza olutalo kumusango guno olumaze emyaaka 10 beddu.
Abagalana bano ab’oluganda nga bonna babugaanye essanyu bagambye nti kino bakikoze okuyamba enkuyanja yaba Merica abagenda mu bikolwa ebyobufumbo naye ate nebakugirwa okufumbiriganwa era nebasigala mu bulamu obwokutya okuyitirivu.
Ababiri bano bagaseeko nokuvumirira gavumenti ya America nti yayonoona obutitimbe bw’ensimbi y’omuwi w’omusolo nga bawakanya okufumbiriganwa kwaabwe.
“Amawano g’omulenzi ne mwanyina okwagalana era nebazaala kubaddewo okuva edda ne dda ensi lweyatandika. Singa Adamu ne Kaawa tebakola mawano gano, oluse lw’abantu oluliwo kati terwandibaddewo, James Banes bweyanyonyodde banna mawulire”