
UgandaLeero: KCCA Etadde Munkola Ekyokugoba Abatembeeyi Ku Nguudo
KAMPALA — Ab’obuyiinza mu KCCA okuva nga 20 02, 2026 baateeka mu nkola ekiragiro ekyaweebwa eri abatembeeyi bonna ku Nguudo z’omu Kampala n’emiriraano. Kino kyaleeseewo okukubagana empawa mu basuubuzi ababadde bakolera mu bifo bino kumutendera ogwa nfuna yaleero. Banna kibuga bano okubeerawo kwaabwe n’okwewala obumenyi bw’amateeka okugobebwa ku Nguudo kigenda kuleeta obutali butebenkenvu mu Kampala.
Ebikwekweeto bino byaawomeddwamu omutwe aba Kampala Capital City Authority (KCCA), nga bayambibwaako ebitongole bya ab’ebyokwerinda aba poliisi n’amagye, bamenyemenye obuddaala, byonna obubadde ku Nguudo, nga mu kiseera kino, obukukuulu bwa baserikale aba, KCCA, poliisi n’amagye bebasiiba ku Nguudo wonna mu Kampala n’obubuga bwonna obwetolodde Kampala.
Ab’ebyokwerinda Ne KCCA Banokolayo Baagala okujjawo Omugotteko Basobole Okukuuma Abantu N’ebyaabwe
KCCA bagamba nti abasubuuzi b’okunguudo balemesa abatambuze n’ebidduka okutambula obulungi kino nekireeta obulippagano obutakoma mu Kampala. Kino kireetawo nnyo obuzibu bwokugogola ekibuga n’okuyoola ebisaaniko mu Kibuga. KCCA bagamba nti kino bakikola okuteeka obusuubuzi obukolera ku mateeka mu Kibuga.

Abakola ku by’okutekeratekera ekibuga bagamba nti abasuubuzi b’okunguudo abatagoberera mateeka bafunza Enguuzo ezirina okutambulirwaako ebidduka ate nga nfuunda zonna. Bagamba nti kino kyongera obubenje ku Nguudo. Kuno kwebagatta n’okwemulugunya okuva mu b’Amadduuka abagamba nti abasuubuzi b’okunguudo babalemesa okutunda ate nga bo tebawa musolo gwabizimbe na layisensi.
Abatembeeyi Bakaaba Olwokujjibwaako Okubeerawo Kwaabwe
Eri abasuubuzi b’okunguudo bagamba nti KCCA ebakubye ekkonde evanyuma erigenderedde okubajja mu Kampala n’okubaleka nga tebalina mirimu. Bagamba nti omulimu gwaabwe guno mwebajja ekigulira Magala eddiba mu biro bino nga tebalina mirimu mirala gyebalina okujjako ogw’okutundira ebintu ku Makubo.
“Tetuli bamenyi b’amateeka. naffe tuwattanya kubeerawo,” nga omusuubuzi oyo mu Katambi kano akalagiddawa wano bwagamba. Abasuubuzi abalala bagamba nti ebifo ebibaweebwa KCCA tebibamala nti era n’ababaguzi tebajja mu butale buno okugula ebintu.
Eby’obufuzi Okwetobeka Mu Byabasuubuzi
Okugobebwa kw’abasuubuzi bano ku Nguudo kuleeseewo okukontana wakati wabanabyabufuzi nabakulembera Ekibuga abalondebwa abantu. Emabegako nga KCCA egezaako okuteeka mu nkola okugoba abasuubuzi ku Nguudo, Omuloodi Mayor wa Kampala, Erias Lukwago, azze akiddingana lunnye nti okugoba abatembeeyi ku Nguudo kirina okukolebwa nga KCCA ettaddemu ak’obuntu okulumirirwa abantu bano abakolera Emmere yaleero. Nti era babe nga bakikola mu ngeri ebasobozesa okikola oluberera nga ssi kubagoba, munnaku bunnaku ate nebamala nebadda.

Ab’ebibiina byaba Nakyewa, Abakulembeze b’omubutale nabo bagamba nti KCCA ekole obuvunanyiizibwa bwaayo mu kyenkanyi nga balubirira enkulakulana n’ebyenfuna ebitwaliramu buli omu. Bagamba nti okugoba abasuubuzi okwekibwatukira kugenda kuletawo oluwonko wakati wabalina ensimbi n’abaavu lunkupe ate nga abaavu bebasinga obungi.
Ebisoomooza Mu Kibuga Ebitaggwa
Obusuubuzi bw’okunguudo okumala emyaka n’ebisiibo kintu ekittaggwa mu byentebenkeza y’Ekibuga. Abekenneenya ebenkulakulana ye Ekibuga bagamba kubangawo nkola yankalakkalira ya muggundu, nga okugazziya obutale, obusobola okolerwaamu ba munfuna mpola, emitendera gyokugoba abasuubuzi ate nga bwebadda ku Nguudo tejja kukoma mu Kampala.
#UgandaToday #PhoenixNewsFeeds #OperaNewsFeeds #Kampala #KCCA #EbisoomoozaMu KibugaEbitaggwa






