Katikkiro Wa Buganda abavubuka gwebakazaako erya CPM, olunnaku lw’eggulo nga 29.06.2022, lwabadde lwa mazaliibwage. Omukulembeze w’ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavument, Robert Kyagulanyi Ssentamu yawuubyeko olubu lw’ebigere ku kitebe ky’obwakabaka e Mengo okuyozayoza Katikkiro olwokutuuka kumazaliibwaage ag’omwaaka guno.

Kyagulanyi amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine, yakulembeddemu ekibinja kya NUP omwaabadde n’omukyaala akikirira Kampala mu lukiiko lwe Ggwanga Shamim Malende.