Kati Kyagulanyi (Bobi Wine) Waddembe Okwekubira Enduulu Ku Puliisi N’ebitongole Byabamukuuma Ddembe Ebirala?
Laba akatambi akaakwatiddwa nga Majambere awera: Eggwanga bweriba likyesembereza ku nfuga egendera ku mateeka, Kyagulanyi asaannidde okutwaala omusango ku Puliisi ogwokutiisatiisa okumalawo obulamubwe.
Uganda Leero: Kati Kyagulanyi (Bobi Wine) Waddembe Okwekubira Enduulu Ku Puliisi N’ebitongole Byabamukuuma Ddembe Ebirala?
Akatambi akaakoleddwa Ivan Kamuntu Semakula amanyiddwa ennyo nga Majambere ku lunnaku lwa Ssekukkulu kalaga, Majambere nga yewerera okutuusa obulabe ku mukulembeze wa National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu era amanyiddwa nga (Bobi Wine).
Majambere eyabadde ayogeza obumalirivu obwekitalo, yategezezza nga “obudde bwa Bobi Wine bwebuweddeko, era nga ennakuze bweziri numbered”… nga bwajja “okumusabula” nga amulanga ye kyeyayise “okuzanyira n’okumanyira Pulezidenti Museveni ne gavumenti. Mukambi kano Majambere yeebuuzizza oba nga “Gavumenti mugiyita Munnyo nti buli maka gubeeramu”?
Kinnajjukirwa nti nga 25, 10 2022 ku Kyalo Kaddunda mukuziika Sulaimani Jakana Nadduli mutabani wa Alhaji Nadduli, Majambere ono yoomu yasowolayo emmundu eya Bbasittola nga ayagala okutuusa obulabe obwamasasi ku Kyagulanyi. Kino nno kyawaliriza, ekitongole ekivunaanyizibwa kukuuma eddembe ly’obuntu mu Ggwanga (Uganda Human Rights Commission) okuvumirira ekikolwa kya Majambere kino.
Ate ye Pulezidenti Museveni bweyali ayogera eri Eggwanga nga akalulu ka 2021 kaakaggwa, yategeeza Eggwanga nti teri muntu, alina ddembe “kwewerera munne newankubadde okumuboggolera”
Eggwanga bweriba likyesembereza ku nfuga egendera ku mateeka, Kyagulanyi asaannidde okutwaala omusango ku Puliisi ogwokutiisatiisa okumalawo obulamubwe.
Reach Out to Us Today!
📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug
📱 WhatsApp: +256 702 239 337
🐦 X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews (Uganda
📧 Email: ugandatodayedition@gmail.com
Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country!