Site icon Uganda Today

Josephine Nambooze: Ammenye Rekoda Eziwera

Kakensa (Professor) Josephine Nambooze nga alaga ekimu kubirabo ebyamuweebwa okusiima emirimu gye.

OMUKYA MU BUGANDA
Josephine Nambooze (Kkobe clan).

Ye mukyala eyasooka okufuuka Dokita, si mu Uganda yokka, wabula ne mubuva njuba ne masekati ga Africa.

Mu mwaaka gwe 2010, professor Nambooze yali omu kubakyala ba kakensa ekkumi Makerere University beyassa mu lusse lwabakyala ba kakensa abaali basukulumye kubalala.

Kakensa Nambooze yeyali omukyala eyasooka okuyingira n’okusoma obwa Dokita mu Tendekero lyabasawo Makerere Medical School mu myaaka gya 1950.

Nambooze ye mukyala eyasooka okufuuka professor oba Kakensa ku lukalu lwa Africa. Ffe ku mukuttu gwaffe tumuyozayoza.

Lindirira ebimukwaatako mubujjuvu kumutimbagano gwaffe guno.

Bwooba olina eggulire, ebirowoozo oba okulungamya kwewetaaga okugabanako naffe, wereza byonna ku ugandatodayedition@gmail.com oba WhatsApp +256 702 239 337

touruganda

Exit mobile version