Banna byamizannyo naddala abagoberera omupiira, omuntu bwayogera ku linnya Ssekatawa, ebiriwoozo bigenderawo kukujjukira omuteebi wa goolo kayingo mu Ttiimu ye Ggwanga ne Express mu myaaka Gye ninaana n’ekyenda.
Issa Ssekatawa eyabbulwaamu “Soka Ttabbu” olw’ekitone ky’okucanga akapiira kyeyayolesaanga, kati bwolaba obulamu bwayitamu, tolema kwewunya gavumenti okutwaliira awumu, n’ekibiina ekifuga omupiira mu Ggwanga ekya FUFA.
ISSA Ssekatawa ku ddyo nga ali ne Makolo Kavuma ku Kono ku Uganda Muslim Council oluvanyuma lw’okusaalira Eyal RDC w’eKayunga Alhajji Nsereko Mutumba
Abantu basuubira nti omuntu yenna munna byamizannyo atuuka kumutendera gw’okuzanyira mu Ttiimu ye Ggwanga, bwawummula asaanidde okuweebwa akasiimo aka buli mweezi nga bweguli ku bannabyabufuzi.
Singa kino kikolebwa, abantu baffe nga Ssekatawa, tebandibadde mu mbeera bweeti.
Kati Ssekatawa Ayoza Kabuyonjo
Makolo Kavuma eyawayizaamu ne Ssekatawa agamba bwaati
“Naye kyankubye encukwe bwe natuuse ku Supreme council nensanga the legend eyasamba omumpiira mu 1982 mu Nytil bwe yava mu Nytil najja mu Express Fc wuuyo ku team ye gwanga nakunakuna ku lwe Ggwanga lino Yisa Ssekatawa nga ali mu kuyonja kabuyonjo, ziyite ttoyi z’oku Supreme nga asasulwa emitwaalo kumi namukaaga (160000).
Ennaku yankute kata ngweewo ekiggwo wallahi. Nattute ekiseera nenjogera ne Ssekatawa nemubuuza nti yii Ssekatwa lwaaki okola guno omulimu, eyakolerera egwanga lino, Ssekatawa nga amaziga gamuyitamu yangambye Mw.Makolo nze gw’olaba wano nagezeeko nyo okusaba omulimu ku Fufa wakiri mbeere akulira okuyonja ku kitebe nga nebwebansasula at least emitwaalo ataano (500,000) omwezi nsobole okuwererako abaana bange n’okulabirira amaka gange naye munange Magogo yagaana.
Yangambye olumu mbu Magogo (akulembera ekibiina ekifuga omupiira my Ggwanga) “yali amutomeredde nomutomerera awo ku Fufa era yangambye nti ekyasembayo Magogo yalagira agavubuka ga kawuula agakuba abantu awo ku Fufa gangobewo” .
Imagine a legend w’omumpiira yii mungu sasira omumpiira gwa Uganda Magogo ali mu kwejabattira mu bi maama awasa ono awasa oli nga abaziimba ekintu kyaalyaamu sente abakizimba bayonja kabuyonjo bafuna mitwaalo kumi nna mukaaga kitalo nnyo .
Njakusaba buli alina obusobozi ayambe Ssekatawa wakiri afune omulimu ogumusanira okusinziira ku bye yakolera eGgwanga.
Ssekatawa yatuuse nokungamba olumu asiiba enjala nga Magogo oli ku kitebe kya Fufa mulya sente z’omumpiira ozzimalawo! Kitalo.
Oli ajja gamba nti lwaki teyetegekera.
Kituufu bwe kyaandibade naye omumpiira mu biseera ebyo temwaali sente nga kati.
Era ngenda kusisinkana Dr. Lawrence Mulindwa munabyanjigiriza era munabyamizanyo omugundiivu ndabe bw’ayinza okuyamba ku Ssekatawa”.