Omubaka wa Mityana Municipality mu lukiiko olukulu olwe e Ggwanga ow’ekitiibwa Zaake Francis Butebi, olunaku lwaleero okubye ebirayiro nga awasa mwana munne omumbejja Bridgette Ndagire Namirembe mu Eklezia Lutikko Namukozi Mityana.
Omukolo guno oggwefugiddwa banna byabufuzi naddala abo abava mu kibiina kya National Unity Platform (NUP), okuviira ddala kubakubi b’ebifanaanyi, bonna beenaanise ovalolo emyuufu.
Bano baasoose kuyisa bivulu mu Kibuga Mityana nga bakulembedwaamu abavubuka abatambulira ku skates ne band eyabadde ekuba enyimba eziwaana omubaka.
Embaga eno gwemukolo oguddiridde okwanjulwa kwa Zaake mu Maka gabazadde ba Namirembe nga 29.08.2022 e Kifamba mu Saza lya Ssaabasajja erye Gomba.
Zaake Yazize Ekirabo Okuva Eri Mukamawe Mu Lukiiko Lwe Ggwanga Kya Bukadde 10.
Nga batuuse mukusembeza abagenyi baabwe enkuyanja, kalabalaba w’omukolo yawadde omubaka wa Ndorwa East akazidaalo atuuse obubaka bwa Speaker eri Zaake.
Omubaka Niwabine yayanjulidde Zaake obubaka obusome era obwabadde buwerekeddwaako kavvu wa bukadde 10 ekyabaadde ekirabo ekimuwerezeddwa Speaker wa Parliament Hon. Annet Anita Among. Zaake bweyakwasiiddwa ebbasa omwabadde sente, yagikasuse era omu kubagenyibe yalabiddwaako nga agironda. Laba akatambi Kano wammanga.
Ebikonge biingi okuva mu kibiina kya NUP babaddewo kumukolo guno. Bano bakulembeddwaamu omukulembeze w’oludda oluwabula gavumenti mu palamenti, Mathias Mpuuga Nsamba, Omuwandiisi owokunttikko mu NUP, David Lewis Rubongoya, omwogezi w’ekibiina kya NUP Yoweri Ssenyonyi nabalala baangi.