Site icon Uganda Today

Ggwe Duleva Bino Obadde Obimanyi?

Baangi kuba Duleva oba olyaawo bonna tebamanyi buvunanyizibwa bwa muserikale wa puliisi akwasisa amateeka kunguudo.

Wetegereze bino:

1. Teri Muserikale wa avunanyizibwa ku bidduka kunguudo (tulafika) ateekeddwa kukujjako dulayivingi pamitiyo nagisigaza. Bwooba olina ensobi yonna gyokoze nga ovuga ekidduka, ateekeddwa kukopololako bukopolozi ebikukwaatako nagikuddiza. Toteekeddwa kuba na dulayivingi pamiti yamitendera, kasita oba nga ovuga motoka yabwannanyinni.

2. Bwooba tewatambudde na dulayivingi pamitiyo, tewali wa puliisi ateekeddwa kukuwa tiketi yamutango awo wakukwaatidde, oteekwa okuweebwa obudde obutasukka nnaku 21 okugireeta nogimulaga.

3. Bwooba oyimiriziddwa olw’okuvuga endiima, waliwo ekigero ekikuweebwa kya  kilomita 8 buli saawa okusukka ku kkomo lya sipidi  gyakwatiddeko.

4. Oli waddembe okusaba omuserikale okutunula ku sipidi gani nokakasa okkuvunaana omusango gwokuvuga endiima omutuufu.

5.Oli waddembe okubuuza omuserikale wa puliisi nambaye bwooba togiraba ku yinifomuye.

6. Bwooba nga osuubira nti abaserikale abakuyimirizza ku luguudo bakimpatira, toyimirira naye vuga buterevu ogende ku puliisi eri okumpi obategeeze.

7.Abaserikale, oba omuserikale wa puliisi nga akukutte olw’okuzza omusango gwonna, tatekeeddwa kutuula mu motokayo bwewabaawo obwetaavu okugenda ku puliisi okwongera okukola kumusango gwo oba okwenyonyolako.

8. Omuserikale wa puliisi yenna akuyimiriza ku luguudo ateekeddwa okusooka okkubuuza n’egonjebwa olwo nalyoka atandika okutegeeza lwaaaki akuyimirizza.

Omukungu wa puliisi nga anyonnyola ku mateeka agafuga abaserikale b’okunguudo

 

 

Exit mobile version