Site icon Uganda Today

Gavumenti Ekweka Ki Ku B’ebijambiya?

Akulira Polisi Station ye Bukomansimbi Akwaatiddwa olwokwasanguza ebikwaata ku batta abantu

Minista W’ebyokwerinda Yagezaako okulemesa ababaka ba Palamenti okwogeraganyaako n’abantu ku ki kyebamanyi ku b’ebijambiya.

Okumalira ddala ebbanga erisukka mu mweezi omulamba, ebitundu by’eMasaka byajjirwa olumbulege lwokutta abantu nga abaziggu bakozesa ebijambiya nebatta abantu naddala abakadde. Bakalibutemu bano, beewunyisa eGgwanga bwebawandiikanga ebibaluwa ku mayumba gabatuuze nga babalaliika nga bwebajja okujja okubatta era nebatuukiriza obutemu buno emirundi miingi nga polisi nabakuuma ddembe abalala bonna besuuliddeyo gwa Nagamba.

Kino nno, kyawawaaza amatu gabangi. Oluvanyuma lw’omweezi omulamba, gavumenti yegaganula okulaga nti erina okutwaala obuvunanyizibwa bwaayo obwokukuuma abantu n’ebyaabwe bwe yakulemberwaamu minista w’ensonga zomunda Chris baryomunsi, Edward Ochom akulira eby’enzirukanya y’emirimu mu polisi ne Ddamulira akulira ekitongole kya polisi ekikola kukunonyereza ku buzzi bwemisango nebagenda e Masaka okusala entotto ngeri ki obutemu buno gyebwaali bulina okkomezebwa.

Wano buli omu weyebuuliza lwaaki gavumenti yali esirisse ebbanga lino lyonna okutuuka okufiirwa obulamu bw’abantu abawereraddala 30?

Oluvanyuma lw’olunaku lumu lwoka nga minista amaze okugenda eMasaka, omukulembeze we Ggwanga yavaayo naawera nga obudde bwebwaali bukeredde abantu ye beyayita “embizzi” abaali batta abantu. Naye ate yagenda mumaaso nalaga oludda nga alangira ab’oludda oluvuganya gavumenti nti bano bebaali emabega wa ebibijambiya.

Wayita mbale, polisi n’entumya ababaka mu palamenti owa kawempe North Muhammadi Ssegirinya nowa Makindye West Ian Ssewanyana bagyeyanjulire batebye byebamanyi kubutemu mu Masaka. Kino bakissa ku bigambo ebyaali bibabuliddwa abantu 15 abaali bakwaatiddwa nti bebaali balonkoma ababaka bano!.

Bano basomerwa emisango gyokutemula abantu basatu ate era n’okugezaako okutta omuntu omulala. Newankubadde nga ababaka okuva mubitundu by’eMasaka baali balaajanira dda gavumenti okumalawo obutemu buno, baali bassiwa nsaano ku Nyanja. Omubaka Matthias Mpuga Nsamba, yali yategeeza dda nga abatemu bano bwebaali baletebwa mu motoka nga bagenda basuulibwa mu bitundu webaali bajja okkola obutemu buno.

Okulabula okwengeri nga eno, Polisi teyagifaangako era abantu nebattibwa

Kyewunyisa nti gavumenti ezze eggula kubantu abenjawulo emisango emigingirire egyengeri eyenjawulo, kino gavumenti yakikola ku Colonel Besigye bweyaggulwaako emisango omwaali nogwokukwaata omukazi, Kaweesi bweyattibwa, eyali akulira polisi mu kiseera ekyo, Kale Kayihura yakwaata abavubuka abavaayo oluvanyuma nebalaga nga bwebaali bafalasiddwa okukonjera ab’oludda oluvuganya Gavumenti nti bebaali bakola olukwe olwokutta Kaweesi. Mu Arua mu 2018, eyali ateekateeka okuvuganya ku bwa Pulesidenti, Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine yakwaatibwa najwetekebwaaako omusango gwokusangibwa ne mundu mu Woteeri ya Pacific mu Arua.! kino kyaddirira abantu okunyiiga oluvanyuma lwa baserikale abakuuma Pulesidenti okusindirira Yasin kawuma eya Dereva wa Kyagulanyi amasasi agamuttirawo. Ebintu nga bino ebigenderera okusiiga enziro abantu abatalina musango bintu bibi nnyo ebisaana okuvumirira buli munnansi. Mu 1994, kati minista Kahinda Otafiire yavaayo nayasanguza mukuziika Teberondwa, nga bo abalwanyi ba Museveni bwebayambalanga engoye za gavumenti ya UPC eyaliwo mukiseera ekyo, nebatta abantu nebakyayiisa Gavumenti.

Okulabuala nga kuno okwajjulanga ejjoogo kwagendanga mumaaso nga abebyokwerinda babasizza kasiiso!

Mukiseera kino abadde Akulira polisi Ye Bukomansimbi OC Abongo yakwaatiddwa naggalirwa olwokwasanguza ebyaama bya gavumenti ebikwaata ku Kutta abantu e Masaka. Ate Ye Minista w’ebyokwerinda Jim Muhwezi yalli agezaako okulemesa ba memba ba Palimenti okwogera n’abantu be Masaka kunsonga yeemu. Gavumenti Ekweeka ki?

 

Maurice Abong OC Bukomansimbi Yakwaatibwa olwokwasanguza ebikwaata ku bebijambiya

Exit mobile version