
UgandaLeero: Gaster Lule Ntake Awonye Okugajambulwa Vicar E Katwe Martyrs
Ebyabadde ku Martyrs Church Katwe byennyamiza.
Amyuuka Vicar yabadde agolola obululu mu biveera nga abuwa Sarah Kalyango kubanga omwawule gwayagala so nga Peter Iga abantu gwebaabadde beetaaga era nga y’abadde asinga amaanyi. Kati bwebaatuuse okubala obululu nga babala obululu nga 50 nga bwa Kalyango nga Iga mulimu oluusi kamu. Naye nga singa okulonda kwabadde kulambulukufu, oyo Sarah Kalyango ekinene ennyo yandibadde afuna obululu 50 gokka.

Omwawule Yaweebuuse
Naye bannange Omwawule yaweebuuse nnyo nabawule banne beyajje mu Busaabadiini bw’e Mengo okumuyamba mu kulondesa. Naye nabo baatunudde nga tebakitegeera. Twabagambye nti muswadde. Kino sikirabangako nga balwanyisa Ntake ne n’ekibiina kye.
Tewaaliwo lukalala, twakola okusemba abantu abaali abokulandako ku Sabbiiti ewedde ate nga baakitusuulako busuuzi. Baasooka e ssande esooka nebakola olukalala naye ku ewedde tebaagoberera lukala. Ku lunaku lw’okusemba abaali ab’okulonda, abantu abasinga tebaasaba kubanga enkuba yatonnya. Abantu bonna betwasemba tebaabasoma okutugamba nti mu kifo kino twasemba gundi ne gundi. Sabbiiti yonna tebanyeze, abantu nebeekalakaasa nebabuuza ki ekigenda mu maaso nga Omwawule asirise nebituuka ne waggulu. Naye waggulu ku Bulabirizi gyebiva, omukyala oyo omusumba amaanyi gyagaggya era obuvuyo bwonna gyebuva.

Okuteekateeka Okulonda Baakikola Ggulolimu
Ku lwomukaaga nebalyoka baweereza ku mikutu nti enkya kulonda. Tugenda okujja okutuuka okulonda nga tebaakoze Lukalala. Wabula nga bakuwa akapapula nga kaliko amannya abiri nga bakubuuza nti ani gwoyagala abeere omukubiriza. Ku kyomukubiriza kwabaddeko Peter Iga ne Sarah Kalyango. Iga baabadde tebasobola kumukyusa kuba abantu gwebaabadde basimbyeko eriiso nga gwebaagala.
Ebifo ebirala byonna, abantu betwateekako tebaabataddeko wabula nga baddira owaabwe gwe baagala nga gwebateekako era nebassaako n’omulala omunafu. Ku Mukubiriza baddidde Sseviri muyimbi talinaamu na mbala yonna eyagala bukubiriza oba ekifo ekirala kyonna mu Kkanisa nti yavuganya Olivia Ntalazi gwebaabadde baagala ate nga Ntalazi naye agamba yeekangidde awo nga alaba erinnya lye ku kakonge k’okulonda.
Bwebaatuuse ku kya enkulakulana Mw. Lule Ntake bamuggyeewo nebateekako Ssebina ne Kanyike. Bano era beekangidde awo nga amannya gaabwe ge gali ku kakonge k’okulonda.
Ku ky’Omuwandiisi baataddeko erinnya lya Sebayigga nga musajja wattu takirootangako nti ayagala ekyobuwandiisi. Baakoze akavuyo era baalowozezza nti olwokuba okusaba kwa ssaawa emu abasabiramu abantu tebabamanyi kwekuleeta abaccuba naye Mw. Lule nagamba abantu abalonda si bakristaayo bawano era awo abantu webaaviiriddeyo okuyiwa akalulu. Kyokka omusumba neyeeweebuula nga avaayo alwane.
Omusumba oyo yaliko Omukubiriza w’e Luzira nga Bishop Banja akyaali Ssaabadiikoni w’e Luzira. Kati awo amaanyi wagajja anti mukwano nnyo gw’Omulabirizi. Ate nga nooyo gyebalwanira okubeera Omukubiriza bamikwano gya mulabirizi n’Omusumba. Ate tolaba nti omwami y’ali ku kakiiko akaziimba ennyumba y’Omulabirizi.
Mw Ntakke yabadde agamba nti tusaba okulonda kubeere kuluŋŋamu omuntu bwebaba bagamba nti kino lino kyetugenda okulonda, abantu abeesimbyewo bayimirire tubalabe kuba abantu abamu abali ku bupapula abantu tebabamanyi. Naye Omwawule teyamuwadde muzindaalo. Ntake oluvannyuma yeesitudde nagenda ewa Canon Nelson Kaweesa, naye nayo talina kyamaanyi kyeyaggyeeyo.
Abaweereza bennyini bebalwanyisa abakristaayo okubaggya mu kkanisa okubamalamu amaanyi. Kyokka kyebeerabidde nti abakulitaayo nabagoberezi abasinga bawagira bali abakulembeze bebagoba.
N’olwekyo ekkanisa yeetaaga okwetereeza abaweereza kati balwana ntalo za mubiri. Omu kubakulitaayo atayagadde kwatula manyage bweyategeezeezza.






