Site icon Uganda Today

Eyawera Okutta Ab NUP Abana Alajaana

Majambere nga ayambadde effulano ya kyenvu era nga attikidde akakkofiira ka kyenvu, ebyambalo ebimulaga nga bwaali omuwagizi wa NRM kakongoliro .

Okusinziira ku bbaluwa gyetulabyeeko, eyawandiikiddwa Majambere eri ekitebe ekikola kukukuuma eddembe ly’obuntu mu Uganda, munnakibiina kya@NRMOnline

, Majambere Kamuntu Semakula Ivan addukidde ku kitebe ekya  Uganda Human Rights Commission  ng’asaba bamuyambe okufuna obubuddamu mu America nga agamba nti atambulira mu kutiisibwatiisibwa okuva mu bannakibiina ki

abali munda ne wabweru w’eggwanga.

Kinajjukirwa nti omweezi ogwaggwa Majambere bweyali yetabye mukuziika mutabani wa Nadduli, (Sulaiman Nadduli) e Nakaseke, kigambibwa nti yasowolayo akabundu ka Bbasitola nekigendererwa okukuba amasasi omu kubakungubazi abaali mukuziika.
Kino kyatanuula bangi kubakungubazi abamuyiikira ekirindi nebatandika okumukuba ekiyifuyiifu era singa Puliisi teyasitukiramu mangu kumutaasa, oba oli awo, ono naye singa efumba eyiye bavunika dda. Majambere nga amaze okujjibwa mu bantu, kigambibwa nti yagenda awera nga bweyali ajja okutta banna NUP 4 beyali alumiriza okumutuusaako obulabe.
At gubadde gukyaali gutyo, ate, Majambere navaayo n’ebbaluwa eno esaba okuyambibwa afune obubuddamu mu America.
Ebbaluwa ya Majambere esaba aweebwe obuyambi asobole okugenda mu America

Exit mobile version