Uganda Today:Banna Uganda ababadde bambadde ebimyuufu era nga bentiimbye ne bendera ye Ggwanga Uganda, baalumbye Wooteri mu London omwabadde musuzibwa eyaliko Ssabaminisita wa Uganda John Patrick Amama Mbabazi 74, nebamuwemukira nga bwebamulangira okuttattana eby’obujjanjabi ne eby’obulamu mu Uganda, banna Uganda ab’awansi abatawerezebwa bweeru wa Ggwanga kufuna bujjanjabi gyebafiira buli lukya, naye ate bbo, abantu nga ba Mbabazi nebakozesa ensiimbi z’omuwi w’omusolo okusobola okufuna obujjanjabi okuva ebweeru.
John Patrick Amama Mbabazi, SC (amanyiddwa ennyo nga Amama Mbabazi), yazaalibwa nga 16 January 1949). Munna Uganda munabyabufuzi era nga yawereza nga Ssabaminisita ow’omwenda mu gavumenti ya Uganda okuva nga 24 Mayi 2011 okutuuka nga 19 Septemba 2014 mukamaawe Museveni lweyamugoba mukifo kino, nga alabye nti ayagala kumwesimbako mu kalulu kabonna aka 2016.
Akatambi akakwaatiddwa nga Banna Uganda Balangira Amama okukolera gavumenti eyayonoona eby’obujjanjabi mu Uganda, ye gyatasobola kufunira bujjanjabi wabula agenda bweeru gyabufunira. baamugambye nti naye adde mu Uganda abe nga banna Uganda abalala
Bano nga bawogannira waggulu baagambye Amama adde mu Uganda gyaaba ajjanjabirwa. “Oswadde nnyo, oswadde nnyo, Ddayo mu Uganda gyooba ojjanjabirwa, lwaaki ofunira wano obujjanjabi”? bakira bwebamucomeera.
Mbabazi bweyabadde nga alinda duleva okumujjawo, mukyalawe yakubye ababadde beekalakasa ebifaanayi ate ye nabawuubira ka jambo.
Mbabazi abadde amaze mu London sabbiiti ezisukka mu emu nga ajjanjabwa omugongo ogutakyamuganya kutambula. Amawulire ku mikutu mugatta babantu gabadde gayittingana nti Mbabazi yafuna okusanyalala mumubiri (stroke).
Naye newankubadde ebyo biri bityo, Mbabazi yanyonyodde “abo bonna ababadde bampereza obubaka obusaba okusuuka amangu, mbebaza nnyo olwokunsasira, okunzizaamu amaanyi n’okunjagala. “Sikituufu nti nafuna okusanyalala mumubiri (stroke), omugongo gwegubadde gunnuma, era gwaterezeddwa abasawo, era sabbiiti nga emu emabega mbadde nenyigira mubujjuvvu mumirimu gyempereza e Ggwanga egy’ebweeru”.