Site icon Uganda Today

Eyaliko Omumyuuka W’omukulembeze W’Eggwanga Tassa Mukka Tassa Mwooyo

Professor Gilbert Baalibaseka Bukenya nga ono yaliko omumyuuka wa pulezidenti Museveni, ye muntu gwoyinza okugeraganyiizaako olugero lwe Kiganda olugamba nti “ekita ekitava kusengejjero, kifuuka wankindo”

Naye nno bino ebiri mukatambi kakawala ekemyaaka ena akawulirwa nga kategeeza akabuuza ebibuuzo mu Lungereza nti kawala ka Professor Gilbert Bukenya nze naawe tulina okumanya oba bituufu.

Akawala kano, kagamba nti keka Nabulo Francisca. Kisaannye kijjukirwe nti omugeenzi nyina wa professor Gilbert Bukenya, gweyayogerako ennyo nga bweyakola omulimu gwokufumba n’okutunda waragi okusobola okumuwerera, erinya ye Nabulo. N’olwekyo kiba kintu kikulu nnyo mu mpisa z’abaganda, okkubbula omwaana erinnya lya Nyoko. Kano, kaba kabonero akalaga, n’okujjukira nyoko ebirungi byekkolera. Ndowooza omwaana ono bwaaba nga wa professor Gilbert Bukenya, tumwebalize ddala olwokujjukira nyina.

Exit mobile version