Site icon Uganda Today

Enseenene Zizaalwaawa? Tuzirya Ziwooma Nnyo

Uganda Leero: Enseenene Zizaalwaawa, Tuzirya Ziwooma nnyo, amanyi atubulireko.

“Okuva mu Ttaka N’okusobola Okubuuka Mu Mweezi Ogwa Museenene.

Enseenene kyakulya ekiwooomera abangi era nga zirina omweezi ogumanyiddwa nga ogwa Museenene mwezsinga okubuukira era n’okulabikira. Edda nga abaganda bebuuza wa Enseenene gyezizaalwa nebatuuka n’okukuba oluyimba nti:

Enseenene zizaalwaawa? Tuzirya ziwooma nnyo, amanyi atubulireko, twakibuuza ne Kayima, gyezizaalwa watubula. Pokino otugamba otya, wefuga Ssaza ddamba, kino kyaaali bwekityo, olwokuba Enseenene zino zasiinganga kubuukira Masaka mu Buddu, Essaza lya Pokino.

Obulamu N’okuzaalwa Kw’enseenene

Enseenene zitandika obulamu bwaazo okuva mu Maggi agabikiibwa ekirindi nezigakweeka mu Ttaka nga enkuba ettonnya entakera efuddemba. Enseenene enkazi ziziika amaggi gano mu Ttaka wansi nga zitangira ebiwuka ebirala okugalya oba enkuba okugakuluggusa nga ettonnya. Okusinziira kumbeera y’obudde, amaggi gano gasobola okubera mu Ttaka eyo gyegaziikiddwa okumala sabbiti eziwera oba oli awo emyeezi nga tegannaba kwalulwa.

Enseenene bwezalulwa, zimera ebiwawaattiro ebizisobozesa okubuuka mu kirindi. Okubuuka kwaazo kuno nakwo kusinziira kumbeera y’obudde weziba zaaluliddwa. Ebintu nga ebbugumu mu Ttaka, obuungi bw’ebirime oba omuddo ogwa kiragala bisikiriza nnyo Enseneene okubuuka.

Lwaaki Enseneene Zibuuka?

Okubuuka kw’enseenene kiva kukwagala okubeera mu bantu ate era nga ziba zaagala okuzaala zinaazo n’okunoonya emmere. Mu Uganda Enseenene za ttunzi nnyo kubanga abantu baziyayaanira okuzirya ate nga okuzitega okuzifuna si kyangu eri buli muntu.

Enseenene Nga Ekyokulya Ekiyayaanirwa

Enseenene zino mu Ggwanga lyaffe Buganda ssi kyakulya kyokka wabula mu buwangwa bwa Baganda, waliwo abazeddira Ab’omuziro gwe Nseenene. Abantu bangi bazitegera ku mataala obudde obw’ekiro nga zitandise okubuuka.

Omugaso Gwaazo Eri Obutonde

Enseneene zikola omulimu gwokulikiriza ebirime ebirala okusobola okuwa omuntu emmere nga Enjuki bwezikola era zikola nga Emmere eri ebitonde ebiraa kunsi. Obuttazittira ddala kuzimala kunsi kirungi nnyo okusobola okukuuma ebitonde bya Katonda byonna kubanga byonna ebitonde kagibe Misota egy’obulabe eri omuntu, bimuyamba mungeri emu oba endala.(Biodiversity)

Ebisomooza Okubaawo Kw’enseenene

Nga ojeeko obungi bwaazo, Enseenene zirina okusomoozebwa kwamaanyi eri abo abaatataganya n’okusaanyaawo obutonde bw’ensi n’abo abazitega okwagala okuzimalirawo ddala. Kyetaagisa nnyo okutega Enseenene nga tubalirira obutasaanyaawo Nseenene.

Exit mobile version