Site icon Uganda Today

Enkyukakyuuka mu Uganda Coffee Development Authority (UCDA) : Abantu Baagala Gavumenti Eziveeko

Uganda Leero: Enkyukakyuuka mu Uganda Coffee Development Authority (UCDA) : Abantu Baagala Gavumenti Eziveeko

Nga omukulembeze we Ggwanga alumye n’ogwengulu okulaba nti ekyasalibwaawo kabbineti ye okufuula ekitongole ekikola kukulabirira n’okutumbula omutindo gw’emwaanyi mu Ggwanga, ekya UCDA, kigibwaawo, banna Uganda abenjawulo nga ba kulemberwa ababaka ba Palamenti abava mu Buganda ne Bugisu, bawakanya ne ssekuwakanya yenna ekirowoozo ky’omukulembeze we Ggwanga.

Kino kyawalirizza omukulembeze we Ggwanga okugezaako okufulumya ebiwandiiko ebyomuddiringanwa nga agezaako okunyonyola lwaki UCDA esaaniidde okudda mu Minisitule y’obulimi n’obulunzi. Naye ate eyaliko Minisita w’ebyensimbi Ezra Suruma era nga ono yakawummula okuba Cansala wa Ssetendekero Makerere University, bweyamaze eggobe mu Kibya nategeeza bannansi lwaki ekitongole kino kirina okusigalawo, olwokuba nti bwekyaali kitandikibwaawo mu myaaka gy’ekyenda, wateekebwaawo omutemwa ogw’okulobola 1% ku buli kilo y’emwaanyi etundibwa ebweeru . Sente zino zezaalina okuyimirizaawo ekitongole kya UCDA okusoboa okukola emirimu gyaakyo.

Naye ekiseera bwekyaayitawo, UCDA yayongeza omusolo ogulobolwa ku buli kilo y’emwaanyi neguzzibwa ku bitundu 2%. Kino nno kyaleetera gavumenti okulowooza nti UCDA yali efuna ensimbi nyingi nnyo, gavumenti nesalawo nti omusolo guno gusolozebwe ekitongole kye Ggwanga ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo, ekya URA.

Ezra Suruma anyonyola nti kino, kyaletera gavumenti okulowooza nti UCDA nayo eri mu ttuluba lyerimu n’ebitongole bya gavumenti ebirala, gavumenti byesasaanyizaako ensimbi enyingi ebyetaaga okuggibwaawo emirimu gyaabyo gikolerwe  minisitule ezitwaala emirimu egigwa mu kkowe lyaazo,  okugeza nga ekitongole kya Dairy Development Authority (DDA).

Okunyonyola kuno, kwaatadde Pulezindenti mu kattu, naayisa ekiwandiiko ekirala nga alabula abantu bonna obutawakannya  kirowoozo kye ekyokujjawo UCDA , nti kubanga ajja kuzza omuliro gwebatajja kusobola kuzikiza.  Newankubadde ebyo biri bityo, naye abantu bagaanyi.

Era wano weyesowoleddeyo omwana muwala ono, eyabadde ayogera Oluganda olumenyefumenyefu nga asaba abantu nga Pasita Bugingo, Full Figure, Abed Bwanika n’abalala abasiiba bogera ku Kyagulanyi mu kifo ky’okwogera ku teeka lyokujjawo UCDA ekola omulimu egw’etendo.

Kinajjukirwa nti gavumenti ya Obote mu myaaka gy’enkaaga yagezaako okukola ekintu ekyefanaanyirizaako kino ku mwaanyi era Abaganda nga bakulemberwa Benedict Kiwanuka nebakiwakanya era nekigwa butaka,

Exit mobile version