OKULANYA N’OKUWERA
Bya Katwere Musajjaakaawa
Weewaawo abantu bangi ddala batankana obuzaale bwabwe; era bangi abalina okusoowagana mu obuvunaanyizibwa, bwa Bajjajjaffe, n’abeebitiibwa. Wabula bulijjo tetusanye tunenye bantu nga bwetuzza embugo!
Kati nsaba munzikirize nziremu ebibuuzo ebyo, nga ntandikira ku kisooka
*1- Okulanya n’okuwera kye ki?*
Okulanya kitegeeza okweyanjula eri bajjajjaffe n’abaganda bonna. Ate okuwera kitegeeza okweyanjula mu maaso ga Nnamulondo.
Okulanya olina okulambulula obuzaale bwo, okuva ku mannya go, aga kitaawo, bajjajjabo mu nju mw’ova, ne bajjajjabo ku mitala emirala egisangibwa mu Nnyumba y’Omusaayi gwo.
Enju esangibwa ku mutala, nga wewali ebigya awasangibwa AMALAALO (EBIGYA) bya bajjajja b’omusaayi gwo.
Okugeza:
*Amannya go:* Katwere Musajjaakaawa, nga ntula Entebe mu Busiro. Nnina emyaka 65, ndi mufumbo, era nnina abakyala, abaana n’abazzukulu.
Amannya ga Kitange ye Katwere Musajjaawaawa Ssaalongo eyawummulira ku Mutala Kiwanyi mu Buddu.
Jjajjange azaala Kitange ye Lutaaya Wavamuno ayawummulira ku Mutala Kiwanyi mu Buddu; ndi muzzukulu wa Lwotoowone eyawummulira ku Mutala Butalaga – Bukomansimbi mu Buddu; ndi muzzukulu wa Kaggwa Ssonko, eyawummulira ku Mutala Butale mu Buddu.
(Lutaaya Wavamuno, Lwotoowone ne Kaggwa Ssonko, zonna ziba NJU ez’omusaayi gwo gumu ezisangibwa mu Nnyumba yeemu)
Nva Nnyumba ya Wagwenkuba obutaka buli Makerere mu Kyaddondo; mu
Lujja lwa Mwanamugimu obutaka buli Nateete mu Kyaddondo; mu Lunyiriri lw’abakondere obutaka buli Bulange mu Kyaddondo.
Nsibuka mu Mutuba gwa Muganga, obutaka buli Ffunvu mu Mawokota, mu Ssiga lya Ssenkungu Mulumuli e Mawokota.
Akasolya ka Muwanga Ssebyoto Kisolo e Bweza mu Busijju, nga ye Katikkiro wa Kabaka Kato Kintu mu Lubiri e Nnono mu Busujju.
Nneddira Ŋŋonge, Akabbiro Kaneene. Omubala gugamba nti “…ku lwajjali ku lwajjali abalabe ba Buganda we baggweera…, ekirimala abasajja nnyago; bbe ppo eddogo…
Nnyabo anzaala ye Namirembe muzzukulu wa Mugema ow’enkima. JJAJJA eyaweeka Maama ye Namutebi muzzukulu wa Ggabunga ow’Emmamba; ate jjajja eyayonsa Taata ye Nakayima muzzukulu wa Kasujja ow’Engeye.
Omuntu alanya nga agenda okusumika oba okusumikira omusika mu lumbe olw’omusajja oba omukazi.
Wabula bwetuba tuwera tetulina kulambulula buzaale bwaffe. Tugamba nti
“Ayi Kabaka nze musajjawo / omuzaanawo…, muzzukulu wa Muwanga Ssebyoto Kisolo… … …” n’omaliriza nti “ayi Kabaka wange woligwa wendigwa, engabo ya bajjajjange nginywezezza okulwanirira Obwakabaka bwange, Eggwanga lyange n’ensi yange Buganda.. Wangaala wangaala wangaala Kabaka wange, Kabaka wa Buganda”