Baangi tebamanyi nti abazungu abatuletera enzikiriza ez’enjawulo ezatuletera okweyawulayawulamu, kati enzikiriza zino, baangi bazivaako dda nebeddira mukunsiza emizimu n’emisambwa ku lunnaku lwebakazaako olwa “Halloween day”
ENSI ENO; Abazungu basera misana bwebamala ne bajja mu Africa ne bavumirira abasezi n’abalogo bannaabwe! Ennaku zino buli Maka mwokyaama mu lujja mulimu obuwangwa bwa bafu, Ssandduko za bafu, entana enkolerere na buli kalonda gyooli nti muba muli magombe!
Bukya mweezi gwa October gutandika ndabye ebintu abazungu byebekola ebyekisezi n’okusamira era ng’ekkanisa, Eklezia n’emizigiti bikalu. Musomamu abantu batono ddala nga abasinga bakazi n’abasajja abakadde. Mu klezia wensomera Missa omubiri lwegguba gukiriza lwetubadde abangi ennyo tuba amakkumi asatu olwo nga waliwo n’embaga songa yo Ekkezia makkula kumpi kwenkana Luttiko.
Abato n’abakulu bonna baba ku mugano nga gwa Nswa
Banaffe bano omweezi ggwa October guba ggwakusamirira lubaale wa Nsujju ate bweguba kuggwaako ensi yonna neyingirira akaterekeerero kokwaniriza abafu nga kigambibwa nti bakomawo okulaba ku bengaanda zaabwe n’emikwano ssaako okweyagalira mu bibuga.
Kigambibwa nti abagenzi batandika okuyingirawo nga 28 October era olwo kiba kijjobi kuba obwaana obwaaffa tebwetuuse, lwebutuuka okuva e Magombe era wonna okwetegeka kuwedde okubwaniriza.
N’abaana abato mu bibuga ne byaalo nga bambadde nga abafu bafuluma okwaniriza bunne bwaabwo era kumpi ekiro kyonna abaana bakimala mu mbirigo nga bwebagenda bakonkona kumayumba. Ggwe oluwulira abakkonkona olina okugulawo kuba tomanyi obukonkona oba bulamu oba bufu…ggwe oggulawo bugguzi n’obusimba candy, chocolates oba sweet.
Nga November 2 abafu abakulu nabo lwebatuuka nga bajjira mu bibinja byenyimbe ez’abatta. Okugeza abaafa Sukaali, abaafa emitima, abaafa omwenge, abafiira mu nnyanja n’ebiringa ebyo. Webutuukidde omwaka guno nga waliwo olutalo wakati wa Bannansi basita kange wamu n’abasamize ku ludda olumu n’abasubuzi ku ludda olulala nga abasamize bagamba nti olwokwagala ssente abasubuuzi banagagga ennaku z’abafu bazifudde za bbinu nga nekigendererwa temukyaali.
Ensonga zirinnye enkandago era nga mu Parliament wasubirwaayo ekiteeso ku nsonga eno Abataka na b’ebyobuwangwa mwebagaalira abasubuuzi bagobwe mu nteekateka y’ennaku zino nga balumiriza nti nemisambwa minyiivu era nga America n’amawanga g’abazungu agalina obulombolombo buno bwolekedde okusanaawo lwa mululu gwa nsimbi.
Mbadde muli nnebuuza oba naluno Ssematimba ayinza okululeeta nga bweyatuleteera Valentine nalufuula olwebinnu kumpi kati kusinga Easter?!. Munange nno ebitali byakulimba okubukira ennnaku zino kirungi eri ebyenfuna anti abantu basuubula ebintu ne babitunda “economy” netambula.
The Day of the Dead (el Día de los Muertos), is a traditional festival period where families welcome back the souls of their deceased relatives for a brief reunion that includes food, drink and celebration. A blend of Mesoamerican ritual, European religion and Spanish culture, the holiday is celebrated each year from October 1 through to November 2nd.
While October 31 is Halloween, November 2 is All Souls Day or the Day of the Dead. According to tradition, the gates of heaven are opened at midnight on October 31 and the spirits of children can rejoin their families for 24 hours. The spirits of adults can do the same on November 2.