Site icon Uganda Today

Emisinde Gy’amazaalibwa Ga Kabaka Kekabonero Akagatta Buli Muntu

Ssaabasajja kabaka nga asimbula abaddusi ku misinde egijagulizibwaako amazaalibwage.

Uganda Today Edition: Emisinde gy’okujaguza amazaalibwa ga Kabaka gemakula ga Buganda

Buli Mwaka mumatulutulu abantu ba Ssaabasajja mu Buganda ne Munsi yonna,  babugaana essanyu era nebajjula obwagazi nemitima gyaabwe negijjula okuyayaana okulaba nga Kabaka waabwe nga ajjaguza olwokuweza omwaka omulala nga alamula Obuganda. Ebijaguzo bino bituuka ku ntikko ku lunnaku olwa nga 13 Kafuumuulampawu.

Naye buli lwa Sande olukulembera olunnaku olwe 13 Kafuumuulampawu, Obwakabaka bwa Buganda buteekateeka emisinde egy’okujaguza amazaalibwa ga Kabaka. Egy’omwaka guno gyakubeerawo nga 07.04.2024 mu Lubiri lwa Kabaka Emmengo. Era emisinde gino nga bulijjo, gisuubirwa okusimbulwa Ssaabasajja yenyinni.

Nambula Schools bano bo baweerezza Ssaabasajja obubaka obwenjawulo mu kujaguza kuno

 

Okumala emyaaka n’ebisiibo Buganda ebadde ejjinja ly’omunsonda mu byafaayo bya Uganda eby’obuwangwa nga birukiddwa munteekateeka y’enfuga ye Ggwanga. Olunnaku lwa sande olusooka mu Zzooba lwa Kafuumuulampawu, ekyokujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja, kyekyomuwendo era akalombolombo akagatta ebikumi nebikumi bya bantu abakungaana okudduka emisinde nga bamaze okugula emijoozi egivaamu ensiimbi nezijjanjaba abantu ba Ssaabasajja abalina obulwadde bwa Nalubiri,  Ekikulukuto mu bakyala n’endwadde ya Mukennenya. Kano kekabonero akoobumu, n’okwenyumiriza era emisinde negigatta buli omu okuva mu bibiina by’obufuzi ebyenjawulo.

Birmingham Uganda Investment Convention 23-24 August  2024, at Burlington MacDonald Hotel/ Burlington Arcade, Registration: Individual 300 pounds, Exhibition: 500 pounds, UK residents free entry: 50 pounds payable for dinner. Inquiries: +44 74 770 38 588 text or WhatsApp

Nga busaasaana, enguudo zomu Kampala zonna zibuna langi emyuufu . Abaddusi ababuli ngeri baba bambadde emijoozi egiriko akabonero k’Obwakabaka bwa Buganda nga bawagira Obwakabaka obuterekaamu. Ate Ssi bantu babulijjo bokka, wabula bannabyabufuzi, abakungu ba gavumenti eyawakati, n’ebitongole ebyabuli kika, beetaba mu kuvugirira  omukolo gw’emisinde gino . Guno gwe mukolo ogukyasiinga okukungaanya abantu mu Uganda.

Chris M. Kato omuweereza wa Ssaabasajja ku BBS Terefayina ate era nga akola ogwokuddukanya. Uganda Today ne Uganda Leero teyalutumidde mwana.

Mubavugirizi buli mwaka bakulemberwa  omulembeze w’Eggwanga, abakulembeze  abalala nebitongole ebyenjawulo nga battadde eby’obuufuzi ebyawulayawula mu bantu ebbali, bonna benyigira mukuvugirira enteekateeka y’emisinde gino.

Nga ojjeeko okugatta bannabyabuufuzi, emisinde gya Kabaka muddaala eri bannamakolero n’abyobusuubuzi abalala okkuddiza ku bantu abagula ebintu byaabwe nga bavugirira emisinde gya Kabaka.  Bonna batimba ebipande ebiranga ebyamaguzi byaabwe ku mukolo guno.

Emisinde egisimbulwa Ssaabasajja yenyinni gibeeramu ebisanyusa ebyabuli ngeri ate abo ababa bataze , babemberera ku Nguudo nga bawagira abaddusi.

Emisinde gya Kabaka gino, kabonero akalaga ki, Buganda kyeeri mukuteekateeka eby’obuufuzi bya Uganda okuviira ddala emabega mubyafaayo  by’obuwangwa bwa Buganda  empisa n’obulombolombo bya baganda era nga byebikwatiridde omumuli gwa Uganda eyawamu.

Omuteesiteesi owenkalakkalira mu Kitongole ekivunanyizibwa ku byobusuubuzi mu Gavument yawakati Geraldine Busuulwa Ssali teyalutumidde mwana  era bwaati bweyaweze nga aweebwa emijoozi ku lw’ekitongolekye

Exit mobile version