Site icon Uganda Today

Elon Musk Omusajja Asinga Obugagga Munsi Yonna Yaani?

Omuwandiisi waffe annyonyola ebifa ku Nnagagga asiinga mu Nsi yonna nga omuntu eyakola ensiimbi nga tagoberedde mitendera abangi gyebayitamu nga bakola obutitimbe bw’ensiimbi.

Bino Byeyalaga

Okumala emyaaka, nalabanga n’okusoma ebiwandiiko ebikwaata ku Elon Musk, naye sabiteekako nnyo birowoozo. Nali nkimanyi nti yeayagunjaawo kampuni y’ebyensimbi ezitambulira ku mutimbagano PayPal, Tesla ne SpaceX nti era Mugagga ffugge.

Gyebuvuddeko, nga maze okusoma eggulire eryawandiikibwa mukyalawe Marie Claire mukatabo,nataandika okulaba firimu ezikwaata ku Elon Musk kumutimagano gwa You Tube. Bwenala firimu zino, nakizuula nti omusajja ono alina obwongo obwesera. Kino kimpa okumwenyumirizaamu.

Musk muyiiya era omutetenkannya akola buli kintu nga talina gweyesigamako. Eno nno si likodda ntono, kituufu buli muntu alowooza, naye abasiinga kuffe tulowooza oba twaagala okulowooza nga abasinga obuungi abalala bwebalowooza. Tetulina birowoozo byabwebange byaffe. Abantu bangi kizibu okwekirizaamu nti ebirowoozo byaabwe bituufu olwokuba nti obukadde n’obukadde abalala, balaba nti ebirowoozo byaabwe bikyaamu.

Musk agamba, nti okusoma obuzimbe bw’ebintu (physics), kyamuyigiriza okulowooza obulungi, okugonjoola ebizibu n’okwebuuza biki byalowooza. kyamuletera okumanya nti buli kyalowoozezaako, kiyinza okuba ekikyaamu okujjako nga amaze okukyekennenyezza dddala naalaba obujulizi obukakasa nti kituufu.

Ndabye firimuze n’obwegendereza obwawaggulu, era kati nkikakasa nti omuntu yenna bwaaba anoonya abantu abalina ebirowoozo ebituufu eby’obwebange Musk, yemuntu asookerwaako.

Obwassekalowooreza bwalina, kunze, kyekimuleetera okusalawo okulungi kuby’obusuubuzi bye. Lowooza kukino, obukadde n’obukadde bw’abantu balowooza nti byoyiiya ekintu ky’ettunzi, olina okukiranga n’olyokka osobola okukitunda. Naye olwokuba Musk Ssekalowooza, yatwaala ekkubo ddala bweyatandika Tesla. yagaana okulanga kampuni eno.

Teeka essira kukyoyiyiiza so ssi kulanga. Musk bwagamba. Amakolero maangi gabuzabuziibwa, basaasaanya ensimbi kubintu ebitayongera mutindo kuby’amaguziibwo.

Elon Musk, Omusajja asinga obugagga munsi yonna. (ekifanaanyi kya  Wikipedia)

Ffe ku Tesla, Musk annyonyola, tetuteeka nsiimbi yonna mukulanga. Tuteeka ensiimbi zonna mukunonyereza n’okukulakulanya byetukola okusobola okwongera omutindo gwa motoka zetufulumya.

Obwo bwebwa Ssekalowooleza.

 

Elon Musk Yaani?

Elon Reeve Musk eyazaalibwa nga 28.06.1971 Nnagagga bifekeera, musiga nsiimbi. Ye Ssentebe, yinginiya  era eyatandika Kampuni ya SpaceX, musiga nsiimbi era omuyiiya mu Tesla Inc, Yeyatandika ekitongole  The Boring Company era eyatandika Kampuni ya Neuralink ne OpenAl.  Alina ensiimbi ezibalirwaamu obuwumbi bwa ensiimbi za America US$221.4. mubippimo ebikyaali ebippya eby’ogwomusaanvu 2022.   Musk ye Nnagagga asinga munsi yonna okusinziira ku Bloomberg Billionaires index ne Forbes.

Musk yazaalibwa mu Kibuga Pretoria ekya South Africa era gyeyakulira.yasomerako katono mu Ssetendekkero University of Pretoria nga tannadda Canada nga wa myaaka 17, yafuna obutuuze bwe Canada nga ayita mu nyina eyali yazaalirwa e Canada. Emyaaka ebiri bwegyayitaawo, yayingira Queeb’s University ate nadda mu University ya Pennsylvania gyeyawangulira Digguli mu Ssomo ly’ebyobusuubuzi ne eby’obuzimbe (physics). Yadda e Calfonia mu 1995 okusoma mu Ssetendekero lya Stanford University gyeyasalirawo okusoma ebyobusubuuzi. Eno ne munne Mugandawe Kimbal  gyeyatandikira kampuni y’omutimbagano Zip2.  Kampuni eno yaguzibwa aba Compaq kubukadde $307 eza America mu 1999. Omwaaka gwegumu, Musk yatandika bank ey’omutimbagano X.com oluvannyuma eyegatta ku Confinity mu 2000 nebakola PayPal. Eno Kampuni nayo yagulibwa aba ebay mu 2002 ku nsiimbi za America obuwumbi $1.5.

Source: Wikipedia

 

Exit mobile version