Generali Elly Tuhirirwe Tumwine, Munna nsiko era abadde omu kubikonge ebifuga e Ggwanga lya Uganda wansi w’obukulembeze bwa pulezidenti Yoweri Tibuhaburwa Museveni, wakujjukirwa nnyo olw’ebintu byeyakola mu bulamubwe.
Bino wammanga nebirala biingi, baangi babijjukira.
Yemusirikale eyasooka okuba essassi nga ye ne banne 27 abaakulemberwa Museveni balumbye Kabamba okunyaga emmundu bongere kw’ezo 27 zebaalina nga bessoga ensiko e Luweero mu 1981. Abantu bano bonna awamu baali 41, Naye 27 bokka bebaalina emmundu. Museveni mukitabo kye ekya “Mastard Seed” ammunnenya nga agamba nti ekikolwa kya Tumwine okukuba essassi omukuumi wa balakisi, kyatemya kubalala bonna nti waaliwo obulumbaganyi kubbalakisi era kino kyabalemesa okunyaga emmundu nebadduka okudda mu Motoka nebabulawo.
Nga bali munsiko, yakubwa eriiso erimu nerivaamu era abadde akozesa nnyo ekizibu kino kyeyatuukako nga akola ebintu ebiwerako ebikosa abalala, era nga bwagambibwaako addamu nga bweyalwana naafiirwa n’eriiso olwokuleeta eddembe mu Ggwanga.
Yeddiza Nomo Gallery e Nakasero mu Kampala. Olwokuba Tumwine, yali mukugu mu by’okuyiiya n’okusiiga ebifanaanyi, yeddiza ekizimbe kya Gavumenti ekya Nomo Gallery, bwebamugamba nti akiveemu oba asasule obusuulu yeerema era n’abuuza nti asasule ani obusuulu awatali obubanja.!
Yalagira okusiba Lukwago ne banne abalala 2 Olwokuwolereza Besigye
Mu 2005 nga Dr. Kizza Besigye yakadda okuva mu buwanganguse e South Africa era nga ateekateeka okuddamu okwesimbaawo ku bwa puledidenti omulundi gwe ogw’okubiri, Tumwine, nga yakulira kooti y’amagye, yamuggulako omusango gw’okulya munsiye olukwe nga alaga nti Dr. Besigye ne banne 22 baalina eby’okulwanyisa nekigendererwa ekyokujjako gavunenti ya Museveni eyali “awangudde” akalulu ka 2001. Lukwago ne ba Puliida abalala 2 bebaali bawolereza Dr. Besigye.
Dr. Besigye bweyasimbibwa mu Kagguli mu Kooti y’amagye e Makindye, yagaana okubaako kyaddamu ku musango Tumwine gweyamusomera ogw’okulya munsiye olukwe. Dr. Besigye yasirika becce, Tumwine nawalirizibwa n’okyuusa olulimi ekibuuzo n’akizza mu Runyankore era Besigye neyeerema. Kooti yajjula enseko. Wanono Lukwago weyamwannuukulira nateegeeza Tumwine nti Dr. Besigye ekimugaanyi okwogera lwakuba yali mu Kooti y’amagye ate nga ye Dr. Besigye yali takyaali w’amagye. Kino kyanyiiza nnyo Tumwine nafuuka kiiso kyambuzi ekirekerera ommussi, nekitunuuliira omubaazi!.
Tumwine yakaalamuka nawoggannira Lukwago nga bwamugamba nga bwayinza okumusiba. Lukwago yamuddamu nga bwaali Puliida wa Besigye, nti era nga Puliida mu Kooti yonna, waddembe okwogera nawolereza omusibe yenna aba yamulagidde okumuwolereza.
Tumwine yagaana okuwuliriza ebya Lukwaago era nalagira Lukwago ne banne ababiri basibibwe e Luzira emyeezi ebiri oba okkuwa engassi ya silingi 1000 buli omu.
Lukwago ne banne baali basazewo bagende basibibwe ne mukama waabwe Besigye okusinga okukiriza okutyooboola eddembe lyaabwe nga banna Mateeka. Wano, omuzira kisa yavaayo nasasula sente ezo 3000 Lukwago ne banne nebatagenda Luzira.!
Tumwine Yaleega Emmundu Mu Cecilia Ogwalo.
Mu Palamenti eye 10 Tumwine yasisinkana n’omubaka omukyala Cecilia Ogwalo munkuubo za Palamenti oluvanyuma lwa Tumwine eyali minista avunanyiizibwa kubutebenkeevu okugaana ababaka b’akakiiko akavunaanyizibwa kubutebenkevu bwe Ggwanga okulambula enyumba omwaali musibiddwa abawagizi b’oludda oluvuganya gavumenti ya Museveni. Cecilia bweyayogerako naye, (Tumwine) yamutiisatiisa nga bweyali asobola okumukuba essassi. Era kigambibwa nti yamukuba oluyi.
Tumwine Yaggulawo ‘Safe Houses’ nyiingi’
Mukalulu ke Ggwanga akakyasembyeeyo era akakyasinze okubaamu okutulugunnya n’okutyooboola eddembe lyabannansi, Tumwine wakujjukirwa nnyo nga minista eyawa ebiragiro by’okukwaata, okukuba n’okutta abawagizi ba Robert Kyagulanyi Ssentamu, eyali attadde mukamaawe Pulezidenti Museveni kukisenge naddala wano mu Buganda awasinga obululu n’abantu abaangi.
Kyagulanyi bweyakwaatibwa mu gwe 11, nga 18 ne 19, 2020, Tumwine yoomu ku abo abalagira poliisi okkuba abantu abaangi abaafa. Era yavaayo ku ntiimbe za Tv, nalaga nga poliisi bweeri yaddembe okkuba abekalakaasi okubatta.!
Tumwine Yawa Museveni Amagezi Aweeyo Obuyinza Eri Omuntu Omulala Mu Mirembe.
Nga akalulu ka 2021, kawedde era nga Pulezidenti Museveni azzeemu okulangirirwa nga Pulezidenti, bweyali alangirira ba minista, Tumwine eyakola obutaweera okulaba nti mukamaawe asigaza entebe, kyewuunyisa baangi Museveni bweyamusuula. Era wano, Tumwine bweyali awaayo office eri eyamuddira mubigere Generali Jim Katugugu Muhwezi, teyaluma mu bigambo bweyasaba Museveni alowooze ku kyokuwummula era aweeyo obuyinza mu ddembe.
Yayisa Olugaayu mu Sipiika Wa Palamenti Rebecca Kadaga.
Bweyayitibwa mu palamenti okwewozaako kukyokukuba Cecilia Ogwalo, Tumwine yagamba Kadaga nti talina buyinza bumukunya kunsonga yonna nga ye omulwaanyi eyaleeta eddembe Sipiika lyeyali yeyagaliramu. Kino nno okusinziira ku akulira eby’empuliziganya ya palamenti, mwami Chris Obore, yakubira Tumwine essimu namutegeeza nti newankubadde yalwana, naye Sipiika wa palamenti ye namba ssatu mubukulembeze bwe Eggwanga nti n’olwekyo Tumwine yali asaanidde okugenda mu palamenti atangaaze kukukwemulugunya kwa Cecilia Ogwalo.