Ekizibu Ekireteddwa Olwa Ham Kiggundu Okuzimba Ku Mwaala Ggwe Nakivubo Mu Kampala

Amataba mu Owino: Laba Akatambi Kano

Ham Kiggundu kati ow’emyaka ana gyokka, agambibwa okuba n’omunene amuli emabega mu by’obusubuuzi byakola.

Uganda Leero: Ekizibu Ekireteddwa Olwa Ham Kiggundu Okuzimba Ku Mwaala Ggwe Nakivubo Mu Kampala

Newankubadde nga mu Sabbiti eno gyetukuba amabega, KCCA yayimiriza Naggagga womu Kampala Ham Kiggundu okuzimba ekizimbe ku Mwaala gwe Nakivubo, nga agamba nti ettka lino lirye, naye byabadde yakakolako biranze akabenje akabadde kolekdde ebitundu ebiriraanye omwala guno nga muno mwotwaalidde akatale ka Owino ne Klezia ya St. Balikuddembe awali ebisigalira by’omujulizi St Baliddembe.

Enkuba eyattonye olwa jjo nga 16/11/2024, olwokuba omwaala guno gwabaadde guzibikiddwa amazzi gayanjaalidde mu Katale ka ka Owino  (St. Balikuddembe nga bwolaba mu Katambi Kano negonoona ebintu bya bukadde.

Amataba Gagoyezza aboomu Owino

Omuggagga Ham Kiggundu ayogerwako nga omuntu alina amuli emebaga okukola byakola mu Kampala, yeddiza kisaawe kye Nakivuvo, edda ekyaali kimanyiddwa ennyo nga Nakivubo war memorium stadium, era nga kino yakimaliriza ne kitongozebwa Pulezidenti Museveni jjuuzi.

Ham Kiggundu yazaalibwa mu gwokubiri 10 1984 e Kalungu-Masaka, Kitaawe ye Haruna Ssegawa ne Nyina ye Nakayiza Jalia. Kiggundu ye Ssenkulu wa Ham Enterprises Uganda Limited. Kiggundu agamba nti ensimbi zeyakozesa okukola eby’obusuuzi bye ebyasooka yazewola mu Banka.

Eby’obusubuuzi bya Ham Kiggundu

Ham akola eby’obusubuuzi omuli eby’amayumba ne Ttaka (Real Estate) Ebya Wooteri (hospitality), Eby’ensubulagana n’amawanga (international trade), Okukwataganya obuweereza eri eby’obusubuuzi (logistics) n’okwongera omutindo ku biva mu by’obulimi (agro-processing). Ham era muvugirizi eri abo abatesobola nga ayita mu kibiinakye ekya Ham Foundation.

Ekisaawe kye Nakivubo ekyaggulwaawo jjuuzi Pulezidenti, kibalirirwaamu obukadde US$ 49 eza Amerika.

Advertising Toyota Vigo

Mugw’okusatu  2021 ekitongole kya Forbes Magazine kyamulaga nga omu ku banna Uganda abasiinga obuggagga nga abalirwaamu obukadde bwa America US$ 870  mu bintu ebikalu nga muza   Uganda zenkanankana 3,139,908,200,000.

Ham ono nga tannaba kuyimirizibwa ba Kitongole kya KCCA, abadde ali kumbiranye n’aba Eklezia ya St Balikuddebe babadde azimbyeeko Bbugwe nga tebakyasobola kugenda ku Eklezia yaabwe.

 

 

 

 

 

Publisher

Toyota Vigo

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!