Ekifanaanyi kino wammanga, okulabikira omulenzi omuto nga asika abajjasi mu mikono, Kigambibwa nti kyakubwa mu 1986.
Omulenzi eyali abuuza ku basirikale omwaali ne bakadogo nga abaserikale abato abaali mu Nsiko bwebaali bayitibwa, kigambibwa nti ye Muhoozi Keinerugaba mutabani wa Pulezidenti Tibuhaburwa Museveni.
General Muhoozi kati, awo yali ajjaguza okuweza emyaaka 12. Abasomera ebbaluwa mu Bbaasa bagamba nti olukwe lwokuyingiza General Muhoozi mu Magye, lwaali lukwe olwaava edda amangu ddala nga Kitaawe General Museveni yakawamba obuyinza.
Ate ggwe tewebuuza lwaaki omwaana omuto ow’emyaaka 12 gyokka, yandibadde alagibwa eri abamagye n’okulambula ennyiriri zaabwe singa tewaali nteekateeka yamuggundu okumuyingiza mu magye.
Kinajjukirwa nti mu November 06, 1999 Dr. Besigye yawandiika ekiwandiiko eky’emiko 14 mweyannyonnyolera ebintu bingi, ye byagamba nti pulezidenti Museveni yali atandisse okuva ku mulamwa ogwabatwaala mu Nsiko okumamulako obukulembeze bwa Obote. Mu bimu kubintu Dr. Besigye byeyayogerako mwemwaali n’ekikolwa ekyokuyingiza Muhoozi mu Magye mungeri eyamankweetu.
Mukiseera ekyo Dr. Besigye yali akyaali offiisa mu Magye era nga akolanga omuwi wa magezi eri minista omubeezi ow’ebyokwerinda.
Ekiwandiiko kino kyaretera Dr. Besigye emiteeru olwokwenyigira mubyobufuzi ate nga yali akyaali mu Magye. Amangu ddala Besigye yalangirira okulekulira amagye, naye kino tekyalobera mukamaawe Museveni kumuvunaana mu Kooti ya Magye.
Mu 2005, munna Magye omulala General Ssejusa naye yemulugunya kukintu kyekimu ekya Muhoozi okuyingizibwa mu Magye n’okukuzibwa kumisende egyayiriyiri, era naye naavunaannwa.
Ekibuuzo Ekiri Mu Ddiiro
Lwaaki General Muhoozi yetaba mu byobufuzi omuli nokulangirira nga bwageenda okwesimbawo ku bwa pulezidenti ate nga akyaali mu Magye naye newatabaawo kimukolebwaako?