Site icon Uganda Today

Ekifanaanyi kino kikutte abantu omubabiro kumuntimbagano

Ekifanaanyi kino kikutte abantu omubabiro kumuntimbagano. Naye ki kyewuunyisa ennyo okulaba nga omusomesa abonereza omuwala ow’ebbina eddene ne kibooko. Osanga obwongo bw’omuwala bwaali buwagamidde nga engeri yokka omusomesa gyeyali alina okubuzza munteeko nga amuyusizzaako ow’embuya.

Nawulidde eyakiyisse ekibonerezo ekyomusango ogwa nnagommola, era nasemba kikomezebwe mumateeka nti kubanga kitataaganya gwekikoleddwaako mu bwongo. Bwekiba bwekityo n’okusiba abazizza emisango mumakommera kikommezebwe kubanga nakyo kikosa abantu mubirowoozo nobwongo. Nsomesezza abaana ba Nasale naba univasite, kyensanze kiri nti abaana abamu bwakola ensobi naddala abato, oyinza okumutunulira obutunulizi n’eriiso erinnenya namanya ensobi ye era ayinza n’okwoza kummunye nga ategedde ensobi ye. Abalala betaaga kuboggolerwa nabandi okubayisaako ow’embuya nebalyoka bammanya.

Exit mobile version