
Uganda Leero: Eggwanga Eririddwaamu Olukwe. Amasomero Agenyamiza Kifuuse Endabirwaamu Ey’obuli Bwe Nguzi
Bya Kunonyereza Kwa Uganda Today
Akatambi akaakwaatibwa aba NTV, kalaga erimu ku masomero mu bitundu bye Kaperabyong, eriri mu mbeera eyanyamiza kalaga essomero ery’essubi, abaana ng tebalina ngatto mu bigere, ekintu ekissa obuntu bulamu wansi ennyo.
Akatammbi kano kalaga omutindo gw’obuwereza bwa gavumenti oguli wansi ennyo newankubadde nga wateekebwaawo embalirira y’ebyengigiriza zigende mu masoso g’ebyalo. Akatambi kano kati kaanise enkola y’obukulembeze obutali bulambulukufu eri bannansi.
Newankubadde nga amasomero mangi mu ggwanga agali mumbeera embi, sente nyingi ezandibadde ziyamba abantu okutwalira awmu, prezidenti azikozesa okuwa ababaka ba palamenti okubagulirira basobole okuyisa amateeka agamuyamba okusigala mu buyinza. Kale nno ebikolwa nga bino bireka palamenti nga esigadde nga omusota ogukuulidwamu ammanyo.
Abatunuliizi b’ebyobufuzi balabudde palamenti okukomya okweweebuula nga baweebwa pulezidenti sente nezibajja ku mulamwa gwaabwe ogwo ogwokutereza buli gavumenti lweeba ewabye. Omulimu gwokugonjoola ebitagenda bulungi mu gavumenti gugenda guggwerawo ddala.
Published by www.ugandatoday.co.ug, your trusted source for news and analysis
Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk
Website: https://www.ugandatoday.co.ug
WhatsApp: +256 702 239 337
X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews (Uganda
Email: ugandatodayedition@gmail.com
Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country.