Abavubuka abawagizi ba Munna NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu abaakwatibwa ekirindi nga 30/12/2020 e Kalangala wakati mukuwenjeza mukama waabwe Kyagulanyi akalulu kobwa pulesidenti, abakuuma ddembe bebaali bakyalemedde, nabo bamaze nebayimbulwa.
Abavubuka bano, bakwaatibwa amagye ge Ggwanga agabazindukiriza nga bagenze okusisinkana abalonzi kubizinga bye Ssesse e Kalangala. Ku olwo Pulesidenti wa NUP ye yateekebwa mu Namunkanga yamagye nakomezebwawo e Kampala ate banne bonna nebatwaalibwa munkomyo.
Oluvanyuma baggulwaako omusango gwokusangibwa namasasi nga kiragiddwa mu mpaaba gavumenti nti bano bonna basangibwa namasasi nga 3/01/2021, era nebatwaalibwa mu kooti yamagye e Makindye.
Omusango guno abawawabirwa bagwegaana era okuva olwo nebasindikibwa ku alimanda mu Kkomera lya gavumenti e Kilya gyebasiddwa okumala ennaku 166.
Wabula abamu kubano bateebwa emabegako awo naye Eddy Mutwe (Eddy Ssebuufu) ne banne abalala omuli Nubian Li (Ali Buken), nabalala bazibwaayo mu Kkomera okutuusa lwebayimbuddwa.
Bangi kubano bagenze okuva munkomyo nga bangi kubenganda zaabwe bakiridde ezzira kumwa nga nabalala bafuniddemu essanyu lye zzadde nga Eddy Mutwe mukyalawe eyazaala mu Ssabbiti eyayita.
Abasibe bano batereddwaako obukwakulizo obwamaanyi omuli obutatambula kusukka Kampala ne Wakiso nga tebasoose kitegeeza kooti, era nga balina n’okweyanjulanga eri ekooti buli luvanyuma lwa Ssabbiti bbiri.
Mukama waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu yabanirizza ku kitebe kyekibiina kyaabwe e Kamwokya wakati mu sanyu nokujjaganya okuva mu benganda abawagizi b’ekibiina Kya NUP.
Kyagulanyi nga ayogerako gyebali, yebazizza nnyo ba naddini nabantu abalala abalala bonna abakoze buli kisoboka okulaba nga gavumenti eyimbula abantube kubanga baali tebalina musango gwona.